TOP
  • Home
  • Agookya
  • Lumumba ayogedde ekyawanguzizza NRM mu Arua

Lumumba ayogedde ekyawanguzizza NRM mu Arua

By Kizito Musoke

Added 17th August 2018

NRM ekkirizza bwe yawanguddwa mu kulonda kwa Arua Munisipaali gye baabadde bajjuza ekifo ekyalimu Col. Ibrahim Abiriga eyattibwa gye buvuddeko.

Lum2703422 703x422

Ssaabawandiisi wa NRM, Kasule Lumumba

Justine Kasule Lumumba, Ssaabawandiisi wa NRM yatuuzizza olukuhhaana lwa bannamawulire eggulo n’ategeeza nti bakkirizza nti Kasiano Wadiri yabawangudde, owa NRM, Nusura Tiperu yakutte kyakubiri.

Bwe yabuuziddwa oba nga mu kiseera kino batandise okweraliikirira amaanyi Bobi Wine g’azze nago naddala olw’engeri gy’abawangudde e Jinja, Bugiri ne Arua yagambye nti si kituufu.

Yagambye nti akakiiko k’ebyokulonda kaakategeka okulonda kwa Palamenti emirundi 32 okuva mu 2016, kyokka ekibiina kya NRM kisobodde okuwangula ebifo 21, UPC -1, DP-1, FDC-2, n’abatalina bibiina mukaaga.

Kasule yagambye nti mu mbeera eyo tebayinza kubeera na kutya kwonna nti NRM bagiri bubi kuba ewangudde ebitundu 66 ku buli 100.

Kyokka mu kulonda okuwerako NRM gye yawanguddwa yagambye nti muzze mwetabikamu ebikolwa by’okutabangula emirembe, n’agamba nti ebikolwa bino bitiisa abakazi okulonda ate nga be bawagizi ba NRM abatakyukakyuka.

Kasule yayozaayozezza aba NRM olw’okuwangula obukiiko bw’abakyala mu disititulikiti ezisinga mu Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...