TOP

Bobi Wine bamusibidde Makindye

By Musasi wa Bukedde

Added 17th August 2018

Ssentebe wa kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti yategeezezza Bobi Wine nti avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n’ebyokulwanyisa mu bukyamu ekimenya etteeka lya UPDF erya 2005.

Wamu 703x422

Emmotoka ezaatutte ssentebe wa kkooti y’amagye Gutti n’abalala nga zisimbula e Makindye okwolekera Gulu. Mu katono ye Bobi Wine

Ssentebe wa kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti yategeezezza Bobi Wine nti avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n’ebyokulwanyisa mu bukyamu ekimenya etteeka lya UPDF erya 2005.

Yamusindise ku limanda okutuusa ku Lwokuna nga August 23, 2018 lw’anaakomawo mu kkooti. Era n’alagira bamuleete mu nkambi y’amagye e Makindye.

Bobi Wine baamutadde ku nnyonyi eyatuukidde ku kisaawe ky’amagye e Ntebe n’afuna obujjanjabi ne balyoka bamuleeta e Makindye.

Bobi Wine n’ababaka Francis Zaake n’abalala baakwatiddwa Arua ku Mmande.

Baakubiddwa nnyo olw’ebigambibwa nti baakoze effujjo omuli okwonoona emmotoka ya Pulezidenti gye baayasizza endabirwamu.

Waliwo ebifaananyi ebyasaasaanye okuli ebyalagiddwa Barbie ebigambibwa okuba ebya Bobi Wine nga bimulaga ali ku kitanda azimbye ffeesi n’omukono ogumu ng’ali ku katanda era mukazi we bwe yabirabye n’ayongera okwecwacwana.

Mu Palamenti ku Lwokusatu, ensonga eno yeefuze olutuula lwonna era omubaka Jonathan Odur owa Erute South mu Arua n’ategeeza nti yafunye amawulire agalaga nti amawulire amagye we gaasaliddewo okuweereza ennyonyi ekime Bobi mu Arua, embeera yabadde yeeraliikiriza.

Yagambye nti mu nnyonyi baatwaliddemu abasawo b’amagye abaagenze bajjanjabe Bobi kyokka mu kumutuusa mu ddwaaliro ly’amagye ery’e Gulu nti n’azirika era nti kino kyabakanze ne batumya abasawo abakugu okuva mu nkambi y’e Bombo abaagenze ne beegatta ku b’e Gulu okutereeza embeera ya Bobi.

Wabula bino Moses Ali yabiwakanyizza n’agamba nti abaakwatiddwa baabadde bafunyeemu obuzibu mu kavuvuhhano nga bakwatibwa wabula nti embeera yaabwe okuli ne Bobi Wine yateredde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...

Noonya 220x290

Ofiisa gwe baakutte ku by'okutta...

OFIISA wa poliisi gwe baakutte ku bya Kirumira, amagye gamubuuzizza ebyaliwo mu kiro kya September 8, 2018; olunaku...

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...

013 220x290

Okuwandiika aba LDU kutandika Lwakubiri...

OKUWANDIIKA abaserikale ba LDU mu Kampala n’emirirwano abagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga ...

Davidkyagambiddwamatovungayogerakumukolo 220x290

Bannakyaggwe mweyongere okuzaala...

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi...