TOP

Bobi Wine bamusibidde Makindye

By Musasi wa Bukedde

Added 17th August 2018

Ssentebe wa kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti yategeezezza Bobi Wine nti avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n’ebyokulwanyisa mu bukyamu ekimenya etteeka lya UPDF erya 2005.

Wamu 703x422

Emmotoka ezaatutte ssentebe wa kkooti y’amagye Gutti n’abalala nga zisimbula e Makindye okwolekera Gulu. Mu katono ye Bobi Wine

Kigambibwa nti omubaka Zaake yasoose kujjanjabibwa mu ddwaaliro ly’amagye e Gulu, kyokka yaggyiddwaayo n’azzibwa mu kaduukulu k’amagye mu nkambi y’e Gulu.

Medard Seggona omu ku babaka abaateekeddwa ku kakiiko k’abantu omukaaga, sipiika ke yataddewo yagambye nti bagenda kulwana bwezizingirire okukakasa nti Bobi Wine addizibwa eddembe lye ng’omubaka wa Kyaddondo East.

Eddie Yawe mukulu wa Bobi Wine yagambye nti byonna bye banaatuusa ku muganda we, bakimanye nti tebiyinza kumutiisa kuva mu byabufuzi kubanga bibali mu musaayi.

Jjajja we ne kitaawe bonna beetaba mu ntalo ez’enjawulo ezaakyusa obukulembeze mu Uganda.

Yayongedde okusambirira emisango gy’okumusanga n’emmundu n’agamba nti alowooza nti mipangirire era balinze Gavumenti obujulizi bw’eneereeta.

Maj. Gen. Mugisha Muntu naye yagambye nti kimwewuunyisa Gavumenti okumala ennaku bbiri ng’eggalidde abantu ate n’evaayo n’ekibassaako nti yabakutte n’emmundu mu busenge bwa wooteeri.

Wadde Bobi Wine yabadde mu kkomera ne Kassiano Wadri nga bombi baggaliddwa, baasobodde okutuuka ku buwanguzi era Wadri n’alangirirwa ng’omubaka owa Arua Municipality.

Bobi Wine yagenda mu Arua okunoonyeza Wadri akalulu. Obuzibu bwaguddewo ku Mmande nga baakamaliriza kampeyini ezisembayo; amagye ne poliisi bwe baakubye amasasi agasse Yassin Kawuma eyabadde avuga emmotoka ya Bobi ey’ekika kya Tundra ne bamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”