TOP

Ensobi ezaakoleddwa poliisi mu Arua

By Ahmed Mukiibi

Added 17th August 2018

PULEZIDENTI Museveni ye yasoose okunenya poliisi n’agirangira obunafu obwavuddeko effujjo eryakoleddwa ku luseregende lw’emmotoka ze, emu n’eyiibwa endabirwamu.

Yiga 703x422

Abass Ssennyonyo Abadde aduumira poliisi mu Arua yakyusiddwa n’atwalibwa e Masaka.

Bannabyabufuzi abooludda oluvuganya nabo baagusalidde poliisi nti enenyezebwa butereevu ku kavuyo akaabadde mu Arua ku Mmande omwafiiridde Yasin Kawuma abadde ddereeva w’omubaka wa Palamenti Bobi Wine n’abantu abawerako okukwatibwa n’okutulugunyizibwa.

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, Betty Achan Aol n’ababaka abalala baasabye wabeewo okubuuliriza okujjuvu ku kavuyo ak’omu Arua kubanga ne poliisi erina ensobi ze yakoze.

Kyokka omwogezi wa poliisi , Emilliano Kayima ensobi zonna yazitisse bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya NRM n’abawagizi b’omubaka omulonde Kassiano Wadri nti, be baabavuddeko embeera eyavuddeko okufa kwa Kawuma kubanga be baalumbaganye mmotoka za Pulezidenti ne bazikuba amayinja.

ENSOBI ZA POLIISI MU ARUA

1 Okukkiriza okuyisa ebivvulu: Mu kiwandiiko kye, Pulezidenti Museveni yagugumbudde poliisi okukkiriza abawagizi b’abeesimbyewo omuli n’aba NRM okuyisa ebivvulu ku nguudo ez’omu kibuga Arua.

Museveni yagambye nti kino kimenya mateeka era n’alabula aba NRM obutakiddamu.

Poliisi yabadde erina okulambika mu buwandiike eri abeesimbyewo n’abawagizi baabwe obutayisa bivvulu nga bagenda n’okuva mu nkuhhaana za kampeyini kyokka ekyo tekyakoleddwa, ekyatuusizza abawagizi ba Wadri okuyita okumpi n’olukuhhaana lwa Musema (FDC) kumpi okulutabangula nga Besigye ayogera.

2 Mmotoka za Pulezidenti: Dr. Besigye bwe yabadde mu lukung'aana lwa bannamawulire ku Katonga Road eggulo yategeezezza nti, yabadde nsobi mmotoka za Pulezidenti okukkirizibwa okuyita mu bawagizi ba Wadri nga bava mu kkampeyini.

Muwanga Kivumbi naye yagambye nti ensobi yabadde ya poliisi obutakola nteekateeka mu budde okutangira embeera eyabaddewo oluseegende kwa mmotoka za Pulezidenti okuyita mu bawagizi ba Wadri ku luguudo Edioffe bwe baabadde bava mu lukuhhaana olwabadde mu Divizoni ya Oli.

3 Okugaba enguudo: Ku lunaku lwa kkampeyini olwasembyeyo ku Mmande waabaddewo enkuhhaana ssatu ez’amaanyi ng’olumu lurimu Pulezidenti Museveni, olulala Dr. Besigye n’olwokusatu lulimu Bobi Wine kyokka poliisi teyakoze nteekateeka ezirambika wa, abawagizi b’enjuyi ezo we baabadde balina okuyita.

Ng’oggyeeko enguudo ezigenda ku Boma Grounds ezaggaddwa, omubaka Francis Gonahasa (FDC) kyokka nga yabadde mu nkambi ya Wadri yategeezezza nti, enguudo endala zonna zaabadde zigule era baatambudde mu luseregende ne bayita okumpi n’ekifo ewaabadde olukuhhaana lwa FDC okugenda mu Divizoni ya Oli.

Poliisi obutagaba nguudo kye gyatuusizza aba Wadri okulabika ng’abaataataganyizza olukuhhaana lwa Besigye.

OKUFA KWA KAWUMA:

Abooludda oluvuganya banenya poliisi n’amagye agakuuma Pulezidenti okukozesa eryaanyi erisusse ku bawagizi baabwe era baalumiriza nti, Kawuma baamusse mu bugenderevu kubanga amasasi ataano (5) ge yakubiddwa ng’atudde mu mmotoka tekiyinza kuba nga kyabadde kya butanwa.

Baagambye nti Kawuma teyabadde na kissi kyonna era yabade tali mu kwekalakaasa.

Kyokka Kayima yagambye nti abooludda oluvuganya be baavuddeko okuttibwa kwa Kawuma.

Poliisi ekyalemeddwa okunnyonnyola ku ngeri abantu abaakwatiddwa omuli n’ababaka gye baatulugunyiziddwaamu.

Ebifaananyi ebiraga omubaka Francis Zaake gye yatulugunyiziddwamu byateeseddwaako mu Palamenti ababaka ne bakwata ku mimwa nga tebakikkiriza engeri munnaabwe gye yabadde awulubadde n’okutonnya omusaayi.

Ababaka abalala okuli Bobi Wine, Paul Mwiru, Karuhanga n’abalala abaakwatiddwa nabo bagambibwa okuba nga baatulugunyiziddwa nnyo era Bobi Wine okufaananako nga Zaake yatwaliddwa ne mu ddwaaliro okujjanjabibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...