TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnannyini wooteeri ya Pacific e Arua asambazze ebyayogeddwa Poliisi ku mmundu ezassiddwa ku Bobi Wine

Nnannyini wooteeri ya Pacific e Arua asambazze ebyayogeddwa Poliisi ku mmundu ezassiddwa ku Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 17th August 2018

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri z’egamba nti zaabadde za Bobi Wine nti tezaggyiddwa mu wooteeri eno.

Candia 703x422

Pacific Hotel mu Arua Bobi Wine ne banne mwe baabakwatira. Mu katono ku kkono ye Candia nannyini yo.

Luigi Candia yagambye Bukedde nti ebyogerwa poliisi nti emmundu ezo zaggyiddwa mu kasenge omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ke yabadde apangisizza okusulamu bifu.

“Ani yabaddewo nga poliisi eyaza akasenge kano? Lwaki baasoose kumenya nzigi za bisenge 22 ekiro ku Mmande ne baaza ne batasangamu kintu kyonna ate ne bategeeza oluvannyuma nti baasangamu emmundu? Baakomyewo ku Lwokubiri ne baaza ne batasangamu mmundu.

Lwaki poliisi erimba nti emmundu yaziggye mu wooteeri yange?’’ Candia bwe yabuuzizza. Kino kidiridde omwogezi wa poliisi mu kitundu ekyo Josephine Angucia okulumiriza nti, baasanze emmundu bbiri, basitoola, essimu ekika kya simati kkumi,ebikooti n’emijoozi emimyufu n’amasasi mu wooteeri.

Yagambye nti, abantu abalala abaasuze mu wooteeri eno n’abakozi be baakubiddwa bubi ku Mmande ng’amagye agakuuma Pulezidenti ge gaakikoze.

Ku Lwokubiri ab’ebyokwerinda baakomyewo ne baaza ng’omukozi wange yabadde atambula nabo era tewali kye baasanze.

‘’Abakozi bange bangambye basanze makerenda na ngoye mmyuufu teri kirala kye baasanze’’ Candia bwe yagambye. ‘’,Poliisi eyogere amazima ereke kulimba.

Eggye wooteeri yange mu bintu ebyo’,’ Candia bwe yagambye. Yagambye nti mu kwaza ebitongole ebikuuma ddembe byayonoonye ebintu bya wooteeri okuli enzigi, ebitanda, baakubye bakasitoma n’okubba ebintu byabwe. Ayagala gavumenti emuliyirire obukadde 80 olw’ebyayonooneddwa.

Yagambye nti ddereeva wa Bobi Winne teyattiddwa kumpi na wooteeri eno yattiddwa walala.

Mu wooteeri endala eriraanyeewo eya Royal Hotel abamu ku bawagizi ba Bobi Wine gye baasuze ensimbi n’ebintu bya bukadde byabuze olwa poliisi , amagye n’abebyokwerinda okugizingako nti baaza.

Yategeezezza nti nkola ya wooteeri eno okwaza abayingiramu era alina emmundu bamugamba ategeeze poliisi.

Yagambye nti, Bobi Wine wadde yapangisizza ebisenge mu wooteeri kyokka teyasuzeemu.

Yagambye abakozi be kkumi baakubiddwa, omu ku bo Bella Gift mukwate.

Omubaka Francis Zaake yaggyiddwa mu kamu ku busenge bwa woteeri eno. Abakulira ebyokwerinda mu kitundu okuli RPC, Jotham Musinguzi, DISO Elly Tugaine baakyusidda okuva mu kitundu kino.

DPC Abbas Senyonjo yatwaliddwa Masaka n’asikizibwa Henry Kintu eyatandise emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko

Kamenke1 220x290

Abadde yaakayimbulwa bazzeemu okumukwatira...

Kiwanuka abadde yaakayimbulwa mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa ku kibonerezo eky’emyaka etaano oluvannyuma...