TOP

Muka Bobi Wine atunudde ku bba n'azirika!

By Musa Ssemwanga

Added 18th August 2018

Muka Bobi Wine atunudde ku bba n'azirika!

Bab1 703x422

Barbie (ku ddyo) ne ssenga we.

MUKA Bobi Wine azirise bw’alabye ku bba mu kkomera ly’amagye e Makindye. Barbie yasemberedde bba eyabadde alabika nga munafu nnyo n’ayagala omugwe mu kifuba wano we yatendewaliddwa n’agwa wansi wakati mu maziga. Yabadde ne Eddie Yawe muganda wa Bobi Wine eyamuyoddeyodde okumuggya wansi. Ate olwo Yawe naye n’adda mu maziga.

Erias Lukwago gwe baagenze naye nga looya wa Bobi Wine yasoose kunyeenya mutwe ate naye n’abeegattako okukulukusa amaziga. Bonna abaagenze okulaba Bobi Wine okuggyako Hajji Meddie Kaggwa ow’ekitongole ky’eddembe ly’obuntu bazze mu kukaaba.

Eggulo ku makya baasimbudde okugenda okulaba Bobi Wine era ku mulyango gw’ekkomera e Makindye baasanzeeyo abantu abalala okuli ababaka ba palamenti abaakulembeddwa akulira oludda oluvuganya Betty Aol.

Kyokka abamagye bakkirizaako abantu batono, abalala ne balindira wabweru. Lukwago oluvannyuma yategeezezza Bukedde nti Bobi Wine baamusanze ali mu bulumi kyokka ng’asobola okwogera empolaampola.

Yabadde awulubadde mu maaso, ng’azimbye emikono era ng’awulira obulumi obw’amaanyi mu mbiriizi, omutwe, amagulu n’obutuuliro. “Atunyumirizza nti baamukuba nnyo. Ekisenge mwe yali kyalumbibwa abamagye nga 15 nga balina emmundu. Ne bakuba oluggi n’aggulawo ne bayingira”, Lukwago bwe yategeezezza ng’annyonnyola ebyamubuuliddwa Bobi Wine.

Lukwago yagambye nti Bobi Wine yeewaayo era teyalwana. Kyokka bo baatandikirawo okumukuba nga bakozesa ebigala by’emmundu, okumusamba buli we basanze. Baamussa mu mmotoka ne bagenda nga bamukuba okutuuka mu nkambi y’amagye e Bondo mu Arua. Bino byaliwo ku Mmande ekiro.

Bwe bwakya ku Lwokubiri ng’ali bubi ne bamutwalira omusawo w’amagye eyamukolako n’asemba bamudduse mangu mu ddwaaliro kubanga embeera yabadde mbi nnyo. Kwe kumussa ku nnyonyi ne bamutwala mu ddwaaliro ly’amagye e Gulu gye baamuggye okumuvunaana mu kkooti y’amagye nayo eyatudde mu nkambi.

Yagguddwaako emisango gy’okusangibwa n’emmundu n’amasasi nga si muserikale. Lukwago yagambye nti Bobi Wine yamutegeezezza nga bwe baamukubye empiso kyokka nga kyabadde tekinnamanyika oba zaabadde za kumukkakkanya bulumi.

Yagambye nti abamagye baasuubizza okutwala Bobi Wine mu ddwaaliro eddene bamukolero Xray n’ebirala. Ajja kuzzibwa mu kkooti y’amagye e Makindye ku Lwokuna olujja nga August 23.

Okugenda e Makindye Barbie yasimbudde ewuwe e Magere kyokka emmotoka n’agireka Kamwokya awali kye bayita ekitebe kya Bobi Wine n’alinnya bodaboda okwanguwa okusisinkana balooya okweyongerayo e Makindye.

Oluvannyuma lw’okugaanibwa okuyingira e Makindye, ababaka nga bali n’akulira oludda oluvuganya mu palamenti baagenze ku kkooti y’amagye e Makindye okuwaayo ekiwandiiko ekisaba okubakkiriza okulaba Bobi Wine.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo