TOP

Munnyambe ntaase bbebi wange - Owa Bukedde

By Joseph Mutebi

Added 18th August 2018

Munnyambe ntaase bbebi wange - Owa Bukedde

Mad1 703x422

“NSABA buli muzirakisa gyali anziruukirire ntaase bbebi wange! Buli omu k’alina yeefiirize annyambe naye omwana agenda kunfaako”. Okulaajana okwo okwa mukozi wa Bukedde TV Mahd Jamada Lusiba eri abasomi ba Bukedde. Anoonya emitwalo gya ddoola ena ( mu za Uganda obukadde 150, nga ddoola tugibalidde ku 3750/- ). Ssente zino zaakumuyamba okutwala bbebi we mu ddwaaliro e Buyindi alongoosebwe oluvannyuma lw’okuziba amaaso n’amatu.

Lusiba annyonyola nti bbebi we ono Alfa Abdulrah-man Lusiba ow’omwaka ogumu n’ekitundu teyalwala wabula nnyina yasisimuka mu ttumbi n’amusanga ng’azirikidde mu buliri! Kino kyaliwo emyezi ebiri emabega.

Alfa Lusiba yeebaka bulungi nga bulijjo wabula nnyina Caroline Leah Eryuba, yagenda okuzuukuka okumuyonsa ng’azirise ku ssaawa nga 9:00 mu ttumbi. Baamuddusa mu ddwaaliro e Lubaga abasawo ne bamuteekaako omukka ogumuyambako okussa n’obupiira mwaliira. “ Wano abasawo we baakatutemera nti omwana yali afunye omusujja gwa mulalama ne yinfekisoni.

Baatugamba nti kirabika yinfekisoni yamugenda ku bwongo era baagenda okukizuula nga tawulira, talaba wadde yali atunula. Abasawo b’e Lubaga bwe baalaba nga bamulemereddwa oluvannyuma lwa wiiki emu n’ekitundu baatusindika e Mulago. Okutuukayo ng’empiso ezibadde zimukubwa zireese ebbwa.” Bwatyo Lusiba bw’anyumya. Ayongerako nti e Mulago, Dr. Kakooza yeyamujjanjaba era baabatuusiza mu kasenge k’abayi. Bwe yagenda atereeramu baabawa ekitanda ku waadi 1C, okumala wiiki ssatu. “Eno Dr. Kakooza yakatutema nti batufunire kansala atubudeebude ffe ng’abazadde tugume nga tukimanyi nti omwana waffe tagenda kuddamu kulaba, kuwulira wadde okutambula.

Twafuna omusawo omulala, Dr J.S .Byarugaba owa “Children Medical Centre’ e Bugoloobi gye twamutwala nga August 7, 2018. Yatuwa essuubi nti omwana waffe asobola okuddamu okulaba ssinga twanguwa ne tumutwala mu ddwaaliro lya “Neurogen Brain And Spine Institute” e Buyindi abajjanjaba obulwadde bwa “Post Meningoencephalitis”ajja kutereera.

Yatutegeeza nti kino kirina kukolebwa mu bwangu. Lusiba agamba nti omwana ono yeetaaga emitwalo gya doola ena ng’obujjanjabi bwakutwala emyaka ebiri gattako ddoola 5000, ez’okusula okumala omwezi mulamba nga bavudde mu ddwaaliro gye banaamala wiiki emu wabula nga balina okumuzzangayo okulaba abasawo okumala omwezi mulamba nga bali mu Buyindi. Mu kiseera kino beetaaga obukadde 70 ezitandikirwako omwana basobole okumulongoosa omulundi ogusooka. Alina obuyambi kuba ku ssimu zino eza Lusiba: 0703337432 ne 0774991228. Osobola n’okuteeka ku akawunti nnamba 01171153933295 mu DFCU mu mannya ga Mahd Lusiba. Okutereeza: Mu ggulire lye twasoose okufulumya ku mwana wa Lusiba ono mu Bukedde w’Olwokutaano, twawandiiseeko omutwe nti yeetaaga obukadde bwa doola buna. Ekituufu kyandibadde emitwalo gya ddoola ena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...