TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine atisse mukyala we Barbie obubaka obutiisa

Bobi Wine atisse mukyala we Barbie obubaka obutiisa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2018

Bobi Wine atisse mukyala we Barbie obubaka obutiisa

Lip1 703x422

Bobi ne mukazi we mu biseera byabwe eby’eddembe.

Muka Bobi Wine ategeezezza nti bwe yasisinkanye bba mu kkomera ku Lwokutaano yamutumye asabe abantu okumusabira kubanga embeera gy’alimu yeetaaga obujjanjabi obw’amaanyi kyokka ng’amagye tegabulina.

Yagambye: bwe baamaze okumukuba, amagye gaalabye avaamu omusaayi, baaleese empiso ne bazimukuba. Balabika bandiba nga baabadde bamujjanjaba kyokka era tewali ayinza kumanya oba zaamukubiddwa lwa kigendererwa kirala.

“Abantu abalinga abo mukwano gwaffe Bobi ali mu mikono gyabwe okumuwa ebyokulya, okumujjanjaba na buli kintu ekyetaagisa omulwadde omuyi. “Buli omu mu ddiini ye asaana asabire ku Bobi Wine kubanga ayita mu bulumi bungi nnyo, era nga bw’omutuukako ng’obadde tomumanyi oyinza okumuyitako okuggyako nga waliwo amukulaze nti wuuno, olw’embeera gy’alimu.

Amaaso tegalaba, amatu n’omubiri gwonna gujjudde mabwa”, bwe yategeezezza. Bobi Wine yamutegeezezza nti amawulire g’okuttibwa kwa ddereeva we Yasin Kawuma gaamusanga alaba mawulire ne mikwano gye mu kifo ekiriirwamu emmere. Yali akyewuunya okuttibwa kwa Yasin, amasasi ne gatandika okuyiika ng’enkuba. Olwo Bobi Wine kwe kwetegula n’agenda mu kisenge kya woteeri ye.

Eno gye baamusanga. Amagye gaakoona oluggi olwo abajaasi ne bayingira ne bamulagira atuule wansi. Aba yeeweta okutuula, omujaasi n’amukuba ku mutwe n’agwa wansi ekyaddiridde kumukuba buli we basanze.

Bobi yakoma okutegeera nga bakyamukuba ku wooteeri,we baamuggye okumutwala mu nkambi era okuddamu okutegeera ng’ali ku kisaawe kya nnyonyi bamutwala mu ddwaaliro Gulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi