TOP

FDC egenda mu kafubo ku bya Bobi Wine ne banne.

By Muwanga Kakooza

Added 20th August 2018

FDC egenda mu kafubo ku bya Bobi Wine ne banne.

Kib1 703x422

Amuriat ng'annyonnyola

FDC etegeezezza nti egenda kutuula n’ebibiina by’oludda oluvuganya okutema empenda z’okwongera okussa ku gavumenti ‘’akazito’’ okulaba ng’eta Bobi Wine n’abantu abalalala abasoba mu 30 abakwatiddwa olw’obuvuyo obwabadde mu kulonda kw’ekibuga Arua.

Mu ngeri FDC esomoozezza Pulezidenti Museveni okukiriza bannamawulire okulaga embeera Bobi Wine gy’alimu bw’aba akakasa nti ali bulungi kiyambe okukkakkanya emitima gy’abawagizi be egyewanise olw’ebigambibwa nti ali bubi

Pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat n’omwogezi w’abakazi ba FDC Sarah Eperu bino baabitegeezezza mu lukung’ana lwa bannamawulire e Najjanankumbi olwogedde ku mbeera eriwo mu ggwanga.

Ne bagamba nti ebyatuuse ku bannaabwe abasiddwa mu nkomyo tebigenda kubayiggula ttama era bagenda kugenda maaso n’okulaba nga basindikiriza gavumenti bagiggye mu buyinza.Bakunze bammemba ba FDC okubaako kye bawa abasibe abasiddwa mu makkomera olw’obuvuyo bw’e Arua okugeza nga babaduukirira mu by’okulya, ssabbuuni n’ebintu ebirala.

Bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya abawerako okwabadde omumyuka w’omwogezi w’ekibiina kya FDC Paul Mwiru, eyawangudde ekifo ky’obubaka bwa Arua Kasiano Wadri, omubaka w’ekibuga Ntungamo Gerald Karuhanga ne bannabyabufuzi abalala bali mu nkomyo ku misango egitali gimu egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe oluvannyuma lw’obuvuyo obwadde mu kulonda kw’e Aru wiiki ewedde.

Basabye Pulezidenti Museveni yekube mu kifuba ate bannabyabufuzi bango.Ku ky’okuzza Kasiano Wadri eyesimbyewo ku lulwe mu FDC, Amuriat yagambye nti wa ddembe okudda bw’aba ayagala kuba ekibiina tekimulinaako kakuku konna. Yagambye nti baawagidde Bruce Musema olw’okuba ye yali yesimbyewo ku lw’ekibiina kyokka okuva lw’atayiseemu tebasobola kugobaganya Wadri bw’aba akirizza okudda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira