TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibiina ekigatta bannaddiini kivuddeyo ku bya Bobi Wine ne banne

Ekibiina ekigatta bannaddiini kivuddeyo ku bya Bobi Wine ne banne

By Scovia Babirye

Added 20th August 2018

EKIBIINA ekitaba bannaddiini muggwanga( Inter-Religious Council) nga kikulembeddwamu Mufti wa Uganda, Shiekh Shaban Ramadhan Mubajje kirabudde Pulzidenti Museveni okwegendereza abantu abamuwa amawulire kuba abasinga bamuwabya ekintu ekiyinza okumuviirako obuzibu.

Mubajje 703x422

Ssentebe w'akakiiko akagatta enzikirizza zonna mu Uganda aka Inter Religious Council Sheikh Ramathan Mubaje (ddyo) ng'ayogera mu lukung'ana lwa bannamawulire ku kitebe kya e Lungujja. Ku kkono y'akulira ekigatta Abalokole ekya Born Again Faith Federation Dr. Jpseph Sserwadda.

Bya SCOVIA BABIRYE

Ono asinzidde ku kiwandiiko Pulezidenti Museveni ky'afulumizza nga kiraga nti omubaka Zaake yadduse mu kaduukulu ka Poliisi ate nga mu kusooka bamwegaana nti tebamulina.

Mubajje ategeezezza Gavumenti nti abantu abakwatibwa  balina okuweebwa omukisa okulaba abantu baabwe, baweebwe obujjanjabi ate bayisibwe bulungi ng’abantu abalala kuba eryo ddembe ly’abwebange si lyakumala kusaba oba kusaba muntu mulala kuba n’omukka tewali agusasulira .

‘’Tugenda kubiteekamu engatto tugenda mu Arua tulabe ekyaviirako obuzibu  n’ebyogerwa oba bituufu  wamu n’okulaba woteeri eyogerwako omwali emmundu ze bagamba naye kijja kutwewunyisa nnyo bwe tunaasanga nga wooteeri eyogerwako ekola ate nga y'ensibuko y’obujulizi,’’ Mubaje bw’ategeezezza. 

Ono asabye Gavumenti okuwa ababaka ba Palamenti ekitiibwa wamu n'abawagizi baabwe, okukomya okukozesa amaanyi agayitiridde nga bakkakkanya abantu wamu n'okuwanga ssemateeka ekitiibwa  kuba akkiriza  Bannayuganda okukozesa eddembe lyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600