TOP

Kabaka ayozaayozezza Abasiraamu okutuuka ku Eid

By Dickson Kulumba

Added 21st August 2018

Kabaka ayozaayozezza Abasiraamu okutuuka ku Eid

Kab1 703x422

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda

SSAABASAJJA aweerezza Abasiraamu obubak bwa Iddi.
 
Mu bubaka bwe Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti Idd wetuukidde nga waliwo obwetaavu bw’okwegatta kwa Bannayuganda babeere bumu okusobola okwanganga eddimu eriboolekedde ery’okulwanyisa obwavu,obulyake n’okwerowoozaako ffekka.
 
Bino biri mu bubaka bwe bweyabadde akulisa Abayisiramu okutuuka ku lunaku lwa  Idd ey’okusala ebisolo bweyafulumizza olunaku lw’eggulo n'alaga obwetaavu bw’abantu okubeera obumu n’okukola okulaba nga Buganda edda ku ntikko.
 
“Tuyozaayoza abantu baffe Abayisiramu okutuuka ku IDD Adhuha. Obusiramu webutukidde ku lunaku luno olw’ekitiibwa nga wakyaliwo  obwetaavu bungi okwegatta era n’okukola ennyo okulaba nga tuzza Buganda ku ntikko,” Obubaka bwa Kabaka bwebwatandise.
 
Yayongedde nagamba nti “Mukwebaza Allah olwa Idd Adhuha tumusaba aleete mu mitima  gyaffe obuntubulamu n’okulumirwa bantu bannaffe. Bino  byebijja okututuusa ku kuba obumu ku ddimu eritwolekedde ffenna nga Bannayuganda mu kulwanyisa obwavu, obulyake, endwadde,obutamanya n’okwerowoozako ffeka.”
 
Yakutidde Abayisiramu bonna okugenda mu maaso n’okweyisa obulungi ate n’okubeera abakozi okukulaakulanya eggwanga lyabwe n’ensi yaabwe.
 
Obubaka bwa Kabaka buno webujjidde ng’eggwanga liri mu katuubagiro k’ebyobufuzi akaviriddeko okwekalakaasa kw’abantu mu bitundu eby’enjawulo oluvanyuma lwa Gavumenti okukwata n’okuggalira Bannabyabufuzi abali ku ludda olugivuganya.
 
Mu bubaka bwe bweyakutira Obuganda ku mukolo gwa Jubireewo yalagira abantu be okwewala omululu kubanga guno gwonoonye eggwanga mu buli kintu era naakubiriza abantu be okussa essira ku bulimi bw’emmwanyi n’okukola ebibiina by’obwegassi okugoba obwavu.
 
OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU:
Tuyozayoza abantu baffe Abayisiramu okutuuka ku IDD Adhuha. Obusiramu webutukidde ku lunaku luno olw’ekitiibwa nga wakyaliwo  obwetaavu bungi okwegatta era n’okukola ennyo okulaba nga tuzza Buganda ku ntikko 
 
Mukwebaza Allah olwa Idd Adhuha tumusaba aleete mu mitima  gyaffe obuntubulamu n’okulumirwa bantu bannaffe. Bino  byebijja okututuusa ku kuba obumu ku ddimu eritwolekedde ffenna nga Bannayuganda mu kulwanyisa obwavu, obulyake, endwadde,obutamanya n’okwerowoozako ffeka.
 
Nga tumaze olunaku luno twagala mugende mu maaso n’okweyisa obulungi, okubeera abakozi ennyo nga mukulakulanya eggwanga lyammwe n’ensi yammwe.
 
Allah abongere emikisa n’obuwanguzi mu byonna byemukola.
Idd Mubarak.
 
RONALD MUWENDA MUTEBI II KABAKA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’