TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abali ku ludda oluvuganya mukomye effujjo - Museveni

Abali ku ludda oluvuganya mukomye effujjo - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2018

PULEZIDENTI Museveni yazzeemu okukakasa Bannayuganga nti tagenda kukkiriza ffujjo mu Uganda n’abebyokwerinda abalagajjalira emirimu gyabwe.

Presidentmuseveni 703x422

Pulezidenti Museveni

Mu kiwandiiko ekyokuna kye yazzeemu okufulumya, yakakasizza nti abaabadde bavunaanyizibwa ku byokwerinda mu West Nile baagobeddwa mbagirawo.

Mu baagobeddwa kuliko omuduumizi wa poliisi mu bitundu bya West Nile, Jonathan Musinguzi.

Ono yasikiddwa Edward Mugweri ng’omuduumizi ow’ekiseera, akulira ekitongole kya poliisi ekikessi mu West Nile, akulira eby’ekikessi mu West Nile Emmanuel Mugisha, akulira eby’ekikessi mu Arua Elly Tugume.

Bano beegasse kw’eyali omuduumizi wa poliisi mu Arua Abbas Ssenyonjo eyasooka okugobwa n’atwalibwa e Masaka ekifo kye ne kiweebwa Henry Kintu.

Yagambye nti, Bobi Wine n’ekibinja kye be baavaako akavuyo konna mu Arua era singa abeebyokwerinda tebaakola kyetaagisa mu bwangu, abantu bangi abaali bagenda okuttibwa ekibinja kya Bobi Wine.

Nti, ekibinja kino kizze kikola effujjo okuva e Jinja ne Bugiri n’agamba nti, abantu be yagobye baalina obusobozi bwonna okutangira ekibinja kya Bobi Wine ne Zaake okukola effujjo kubanga baali baakirabako dda nga balikola e Jinja ne Bugiri.

Yagambye nti, alina obukakafu bw’obutambi obulaga ekibinja kino nga kikola effujjo bwe yagambye nti abantu balina okubulabako. Yagasseeko nti, ekibinja kya Bobi Wine kyali kikuhhaanyizza amayinja, ebiso nti waliwo n’ebigambibwa nti balina n’emmundu.

Yagasseeko nti, ayagala okwongera okwetegereza engeri ddereeva wa Bobi Wine Yasin Kawuma gye yattibwamu kyokka n’ategeeza nti, singa poliisi eba terina bikozesebwa mu kukkakkanya bujagalalo, esobola okukozesa amasasi aga ddala.

Yayogedde ne ku kwekalakaasa kw’e Mityana n’agamba nti abeegugunze, baabadde balina akakwate ku Zaake n’ategeeza nti, ebyembi, abantu abaabadde ku byabwe, baakubiddwa amasasi mu mmotoka omu n’afa.

Yagambye nti abaserikale babiri abaabadde ku byabwe nga tebatumiddwa baakubye amasasi agaakutte abantu abaabadde ku byabwe n’agamba nti, akulira ebyensimbi mu maka g’Obwapulezidenti Lucy Nakyobe agenda kunoonya famire y’eyafudde alabe bw’abayamba.

Yagasseeko nti, Zaake yakolagana n’abasawo mu ddwaaliro e Arua gye yali atwaliddwa n’adduka ku kitanda kyokka ekirungi yazuuliddwa mu ddwaaliro mu Kampala n’agamba nti, poliisi tennagendayo kumukwata wabula bw’awona emisango gye gimulinze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira

Rat2 220x290

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola...

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Hit 220x290

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo...

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo awonya obwannabukalu mu bakyala ssaako n'amaanyi g'ekisajja ? Soma wano mu mboozi...

Rab 220x290

Omuyizi awanuse ku muti gw'omuyembe...

Omuyizi awanuse ku muti gw'omuyembe n'akosebwa mu bwongo