TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyokutwalira Bobi Wine abaana be okumulabako biri mu lusuubo

Ebyokutwalira Bobi Wine abaana be okumulabako biri mu lusuubo

By Josephat Sseguya

Added 22nd August 2018

EGGULO famire ya Bobi Wine omuli bakulu be Eddy Yawe, John Sekalega Sentamu, Mickie Wine, Banjoman n’abalala nga ne mukyala we Barbie Kyagulanyi mwali baasiibye mu kafubo ku kye bazzaako ku muntu waabwe amaze ennaku munaana mu kaduuluku k’amagye e Makindye.

Bala 703x422

Bobi ne Barbie n'abaana

Ekimu ku bye baasinze okuteesaako y’engeri gye bagenda okutwala abaana okulaba ku kitaabwe Bobi Wine nga bwe yasaba omwabadde Abamu baakiwakanyizza nga balowooza nti, abaana bayinza okuyisibwa obubi okusinziira ku kitaabwe bw’afaanana.

Abalala baabadde balowooza nti, tekirina buzibu kuba n’abaana babuuza kitaabwe gy’ali era ng’oggyeeko Simon Kampala ali kati mu siniya esooka, abasigadde okuli n’atannaweza myaka esatu tebamanyi kigenda mu maaso bakaaba kimu ‘Ddadi’ era ng’okumulabako kye kibamala.

Kino kiddiridde Bobi Wine okusaba amagye gamukkirize alabe ku baana be n’akkirizibwa ne bamuwa Lwakubiri okubamutwalira nga tannazzibwa mu kkooti y’amagye ku Lwokuna lwa wiiki eno.

Avunaanibwa ku bigambibwa nti bwe yali mu Arua ng’anoonyeza Kassiano Wadri akalulu, ekisenge kye yali asulamu mu Pacific Hotel mwasangibwamu emmundu ezigambibwa nti zaali zize.

Taata w’abaana bano omuto, John Sentamu Sekalega yategeezezza nti, abaana baasalawo babatwale e Makindye ku Lwukubiri (eggulo) kyokka nga famire yabadde tennasalawo oba batwalibwe ku olwo oba ku Lwakusatu (leero).

We bwawungeeredde eggulo ga famire ekyatudde e Magere mu lukiiko ng’ebyokutwala abaana abo tebinnakolebwako.

Bobi Wine alina abaana bataano ne mukyala we Barbie gwe baagattibwa naye mu bufumbo mu August wa 2011.

Kyokka alina omwana omulala omu gwe yazaala mu nkubakyeyo ow’e Bungereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?

Kita 220x290

Ebya Kitatta bijulidde

Kino kitegeeza Kitatta wakubeera mu kkomera okumala okumala ebbanga eritamanyiddwa okutuusa abakulu lwe banakomawo...

Teija1 220x290

Bamalaaya banyaze munnansi wa Ethiopia...

POLIISI ekoze ekikwekweeto mu loogi z’oku William Street n’ekwata abakazi mukaaga abakola obwa malaaya abagambibwa...