TOP

Ababaka bakubaganye empawa ku bya Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2018

Omubaka wa Busiro South, Medard Lubega Sseggona yagambye nti bwe baatuuse beewuunyizza ababaka abaalambula Bobi Wine ku Ssande abaategeezezza nti, Bobi baamusanze mu mbeera nnungi ddala.

Pray 703x422

Omu ku babaka abaagendayo ku Ssande Ruth Doreen Amule y'omu ku bazzeeyo ku Mmande kyokka ate eggulo yategeezezza nti Bobi Wine yeetaaga obujjanjabi obusingawo amangu ddala.

Kyaddiridde ababaka okutabukira bannaabwe bano abaakyalayo ku Ssande nga bagamba nti lipoota gye baawa erabika teyali ntuufu.

Ababaka okuli Peter Ogwanga (Usuk), Arinaitwe Rwakajara, Doreen Amule Ruth, Anita Among ne Ibrahim Kasozi beesitula ku Ssande ne balambula Bobi Wine mu nkambi y’amagye e Makindye.

Ibrahim Kasozi (Makindye East) yayawukanya ku banne bwe yategeezezza nti Bobi Wine tasobola kuyimirira nga tebamukwatiridde.

Moses Kasibante (Lubaga North) yeewuunyizza eyasindise ababaka bano n’ategeeza Sipiika yateekawo dda akakiiko akamanyiddwa.

Luttamaguzi Semakula (Nakaseke South) yagambye nti ebyayogeddwa ababaka biringa ebifumbirire kuba bwe yayogeddeko ne Kasozi gwe baagenze naye yamugambye nti, banne bye baalabye ate baabifulumizza kifuulannenge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...