TOP

Omwana amuguddeko mu kaabuyonjo ew’omusiguze

By SHAMIM NABUNNYA

Added 22nd August 2018

OMUKAZI eyagenze n’omwana we ew’omusiguze, gamumyuse omwana bw’amuggudeko mu kinnya kya kazambi n’afiiramu. Bino byabadde Busaabala.

Pada 703x422

Nantume n’omwana eyafudde.

Irene Nantume eyatuuse ku kizibu kino nga mutuuze we Masajja -Kibira yabadde alina kuddukira ku poliisi y’e Katwe okwetaasa oluvannyuma lw’abatuuze okutaama nga baagala kumugajambula.

Omwana Joram Kabuye eyagudde mu kaabuyonjo nga nnyina ali mu kwesanyusa n’omusiguze yabadde wa mwaka gumu. Kigambibwa omwana olwafudde Nantume, okumuzza awaka yamuleese amuweese mu mugongo okubuzaabuza n’amubikka mu buliri.

Muliraanwa Joyce Nabakooza, yategeezezza nti Nantume abadde atulugunya omwana we ng’oyinza n’okulowooza nti si wuwe nga ne gye buvuddeko yakuba omwana nazirika kyokka bwe yamugambako n’alufuula lutalo.

Nabakooza yategeezezza nti Nantume lwe yakomyewo, yalabye omwana nga yeewunzise nnyo ensingo kwe kubuuza Nantume omwana ky’abadde wabula n’amutegeeza nti omwana yali mungovu nga tasobola na kwogera.

Agamba nti oluvannyuma bwe yakutte ku mwana mu nju ng’annyogoga ng’ate ne Nantume by’ayogera tebikwatagana kwe kutemya ku batuuzee nabo abaatemezza ku poliisi n’ejja.

Kitaawe w’omwana Charles Kirumira yategeezezza nti omukazi yava awaka ku Lwokutaano ng’amutegeezezza nti agenda wa ssenga we e Masaka, kyokka kyamwewuunyisizza okumuleetera omulambo gw’omwana we nti, yafiiridde mu kinnya kya kaabuyonjo nnyina ng’ali n’omusiguze.

Ssentebe wa Masajja Kibira B, Samuel Wasswa Luwandagga yategeezezza nti abatuuze baamukubidde essimu era olwatuuse n’abuuza Nantume ebibaddewo, n’amutegeeza nti omwana yagudde ku kabenje e Busaabala.

Omulambo gwabaddeko ebisago ku mutwe ne mu bulago era nga gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa kyokka Nantume ye akuumibwa ku poliisi ye Katwe gye yagguliddwaawo fayiro nnamba SD:58/18/08/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda