TOP
  • Home
  • Agawano
  • Basiimye Robert Kabushenga mu kuziika owa Vision Group

Basiimye Robert Kabushenga mu kuziika owa Vision Group

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2018

ABAKUNGUBAZI ab’enjawulo basiimye akulira Vision Group n’abakozi baayo, mu kuziika abadde mukozi munnaabwe Kamila Asiya.

Kabs 703x422

Omugenzi Kamila nga bw'abadde afaanana. Ku ddyo ng'akulira Vision Group, Robert Kabushenga asitula ssanduuke omuli omulambo gw'omugenzi mu kuziika e Moyo

BYA RICHARD KAYIIRA

Kamila yaziikiddwa ku Mmande e Metu mu disitulikiti y’e Moyo era Robert Kabushenga, akulira Vision Group y’omu baaziise Kamila eyayogeddwaako ng’abadde omukozi omwesigwa.

Kabushenga, akulira Vision Group baamusiimye olw’okulaba obusobozi Kamila bw’abadde alina, n’amukuumira ku mulimu emyaka emingi ng’aweereza mu Vision Group.

Omugenzi yakolera kkampuni emyaka 23 nga y’ayaniriza abagenyi n’okukwata amasimu agakubwa abalina kye beetaaga okumanya, okutuusa mu June 2018 lwe yasalawo okuwummula alabirire abazzukulu.

Wabula eby’embi yalumbiddwa lubyamira ow’amaanyi wiiki ewedde era n’afiira mu ddwaaliro e Mengo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Lubyamira yamulumba yaakamala okuva e Moyo okuziika kitaawe eyafa wiiki bbiri eziyise. Mu kuziika, abakungubazi ab’enjawulo baasiimye Kabushenga olw’obuntubulamu bw’abadde alaga Kamila ne famire ye.

Kamila yalese abaana okuli Robert Amayo, Jean Tabu ne Max Adii gwe yalabirira okuva obuto n’okumuweerera.

Taata w’abaana John Ocheng yagambye nti maama w’abaana be ono afudde yeenyumiriza nnyo mu Kabushenga n’abakozi ba Vision Group olw’engeri ennungi gye babadde bakolaganamu naye era kino ne kyeyolekera ne mu kumukungubagira n’okumuziika.

Abakungubazi abalala mu kwogera nabo baasiimye Kabushenga n’abakozi ba Vision Group olw’obwasseruganda obwalagiddwa omuntu waabwe mu bulamu ne mu kufa.

Omubaka wa Palamenti Tom Aza Alero, akiikirira ekitundu kya West Moyo gye baaziise yagambye nti: Mwami Kabushenga nkwebaza nnyo olw’okuwa muwala waffe omulimu ate n’ogumukuumirako ebbanga eddene ate n’okumuwandiikako mu mawulire abantu abalala bamuyigireko.

Yayongeddeko nti ebintu ebirungi Kamila by’akoze tebyabeewuunyisa ng’abeekitundu kubanga ne famire mw’ava erina likodi ennungi era kitaawe ye yawaayo ettaka okuli essomero lya siniya ery’ekitundu n’eddwaaliro ly’ekitundu.

Kabushenga yakuutidde abaana ba Kamila okussaamu amaanyi batwale mu maaso erinnya eddungi nnyaabwe ly’alese ne basuubiza okussa mu nkola ebyo byonna nnyaabwe by’abayigirizza omuli obunyiikivu, obwetoowaze, obwesigwa n’okuyamba abalina obwetaavu.

Kamila alese abazzukulu bana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.