TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamulekwa batuukirizza ekiragiro ky'omugagga Nagawa mu kuziika

Bamulekwa batuukirizza ekiragiro ky'omugagga Nagawa mu kuziika

By Joseph Mutebi

Added 22nd August 2018

Bamulekwa batuukirizza ekiragiro ky'omugagga Nagawa mu kuziika

Lib1 703x422

Bamulekwa nga bassa ku nnyabwe ekimuli

OMUGAGGA Annet Nagawa eyafiiridde ku  54 aziikiddwa e Kitala ku lwe Ntebe.

Nagawa yafa ku ssande oluvannyuma lw'okumala ekiseera ng'atawaanyizibwa ekirwadde ky'ensigo.

Nagawa abadde omu ku bagagga b'omu Kampala abasirise era y'abadde nnannyini kampuni ya Bus za Jussy Coaches ezikolera e Kabale ssaako ne business endala omuli amaduuka agatunda ebizimbisibwa ag'amaanyi.

Nagawa abadde muzadde n'abaana mukaaga omuli abawala basatu n'abalenzi basatu era nga bano yabawanjagidde okusigala obumu basobole okutambuza obulungi emmaali gy'abalekedde.

 

Nagawa yazaala abaana mu basajja babiri era olw'obutassaawo njawukana mu baana tayagadde kubaako kiggya kyebamuziika kwekusalawo aziikibwe ku kiggya kya kitaawe e Kitala e Ku lw'E Ntebe

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda