TOP

Fayiro ya Kayihura bagimalirizza

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2018

Fayiro ya Kayihura bagimalirizza

Kal1 703x422

Kale Kayihura

FAYIRO amagye mwe gategekera okuvunaanira Gen. Kayihura nayo bagimalirizza, oluvannyuma lw’emyezi egisukka mw’ebiri nga bamukuumira mu kkomera ly’amagye e Makindye nga tawozesebwa.

Oluvannyuma lw’okumaliriza okutegeka fayiro, abaategese fayiro baasembye enteekateeka zikolebwe okuwozesa Gen. Kale Kayihura mu kkooti y’amagye era ensonda zaategeezezza nti kye baasembye kikolebwe kyawagiddwa boofiisa abawerako.

Kigambibwa nti wadde Kayihura yasalawo obutatwala nsonga mu kkooti ng’awakanya eky’okumusiba ebbanga eddene, wabula boofiisa b’amagye babadde bateekebwa ku nninga ku nsonga eno era ekyo boofiisa bangi baagala kiveewo ng’atwaliddwa n’avunaanibwa.

Okwekalakaasa kw’abantu b’e Kisoro abaategese okusaba mu bifo eby’enjawulo wiiki ewedde bye bimu ku byayongedde obwetaavu okumaliriza fayiro ya Kayihura n’ekigendererwa eky’okumutwal mu kkooti.

Waabaddewo n’abaabadde bagamba nti Kayihura waakutwalibwa mu kkooti olwaleero kikwatagane n’okuleetebwa kwa Bobi Wine mu kkooti e Makindye, kyokka Bukedde bwe yatuukiridde omwogezi w’amagye Brig. Richard Karemire eggulo yategeezezza nti, yabadde tannafuna kumanyisibwa kwonna kw’ekyo n’agattako nti baakutegeeza eggwanga mu kiseera ekituufu ng’ekisembayo kituukiddwaako.

Ensonda zaategeezezza nti fayiro eno yavudde mu mikono gy’akakiiko akanoonyereza akassibwawo akakulirwa dayirekita wa CID, Grace Akullo n’eweerezebwa amagye gasalewo ebiddako.

EMISANGO GYE BATADDE MU FAYIRO Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti egimu ku misango egiteekeddwa mu fayiro kuliko ogw’okukozesa obubi ofiisi y’obuduumizi bwa poliisi bwe yamalako emyaka kumpi 13.

Kuno bagasseeko n’obujulizi obumulumiriza okuwa boofiisa be yali atwala okukwata (okuwamba) bannansi ba Rwanda abaali banoonya obubudamu wano ne bakwatibwa mu ngeri emenya amateeka (Conspiracy to kidnap individuals of Rwandese origin) ne bongerako n’okuwa olukusa boofiisa be yali atwala mu poliisi okuzzaayo bannansi ba Rwanda gye baava mu ngeri etagoberera mateeka (Commissioning illegal repatriation of refugees).

Abamu ku banoonyi b’obubudamu abo battibwa nga baakatuusibwa e Rwanda. Ensonda zaategeezezza nti ku fayiro era kuliko n’obujulizi obulumiriza Kayihura okuwa abantu baabulijjo emmundu awatali kugoberera mitendera giri mu mateeka (issuance of guns against set out procedures) kuno kwe bagasse n’obujulizi ku musango gw’okutaataaganya entambuza y’amateeka entuufu (Interfering with the process of law) ekikontana n’akatundu 166 ak’etteeka lya UPDF erya 2005 (UPDF Act 2005).

Omusango guno era gwe gwavunaanibwa eyali Dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikessi ku mulembe gwa Kayihura ayitibwa Col. Ndahura Atwoki. Fayiro ya Kayihura yagoberedde eya Atwoki mu kumalirizibwa.

Wabula ensonda zaategeezezza nti ebikwata ku nsonga z’eyali omwogezi wa poliisi AIGP Andrew Felix Kaweesi mu fayiro eyamaliriziddwa tebiriimu. Omu ku bambega yagambye nti ebya Kaweesi birina fayiro yaabyo kyokka tekimanyiddwa oba Kayihura akoonwako mu fayiro eyo oba taliimu.

Jet Tumwebaze omu ku balooya ba Gen. Kayihura, gye buvuddeko yategeeza nti bawadde amagye obudde okukola okunoonyereza kwago era n’omuntu waabwe (Kayihura) talina kupapa kwonna wabula n’agattako nti okuva lwe yakwatibwa yali takolanga siteetimenti yonna.

Omu ku balooya era ng’ali ku lusegere ne famire ya Kayihura yagambye nti abuusabuusa nti amagye ganaatwala Genero ono mu kkooti mu bwangu kubanga yasembye okumanya wiiki ewedde nga Kayihura era tannakola siteetimenti, ng’akyasaba kimu kusisinkana Pulezidenti amubuulire “obulimba” bwe bamussaako.

Kigambibwa nti Kayihura wamu n’abantu be, kaweefube waabwe baamuteeka ku kimu kusisinkana Pulezidenti Museveni bamunnyonnyole nti obujulizi obwesigamwako okukwata Kayihura bwali bupangirire.

Wabula kaweefube oyo tavangamu kalungi konna. Kayihura baamukwata nga June 13, 2018 era ennyonyi y’amagye yamukima ku ffaamu ye e Kasagama, Lyantonde oluvannyuma lw’okumutumya asisinkane omuduumizi w’eggye Gen. David Muhoozi ku ofiisi e Mbuya wabula n’atagenda kweyanjula. Baayaza amaka ge ag’enjawulo nga batandikira ku g’e Muyenga era ne baabaako ebintu ebimu bye baggyayo bye baatwala ng’ebizibiti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.