TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura asimbiddwa mu kkooti y'Amagye ne bamusomera emisango esatu

Kayihura asimbiddwa mu kkooti y'Amagye ne bamusomera emisango esatu

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2018

Kayihura asimbiddwa mu kkooti y'Amagye ne bamusomera emisango esatu

Lek1 703x422

Gen. kale Kayihura ng'asimbiddwa mu kkooti y'Amagye e Makindye

EYALI omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura olwaleero asimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye mu maaso g'akulira kkooti eno Andrew Guti, ne bamusomera emisango esatu omuli omubadde okukozesa obubi woofiisi ye n'awa abantu baabulijjo emmundu, okulemwa okunnyonnyola ekyamuteesaawo ebitongole by'okwerinda eby'enjawulo omuli Flying Squad, ssaako n'okuzzaayo bannansi ba Rwanda abadduukiranga mu Uganda okufuna obubudamu.

Omulamuzi wa kkooti Andrew Guti abuuzizza Kayihura oba emisango gino gyonna egimusomeddwa agimanyi wabula gyonna n'agyegaana. 

Oluvannyuma ba puliida ba Kayihura nga bakulembeddwaamu Peter Kabatsi basabye omulamuzi akkirize Kayihura okweyimirirwa oluvannyuma lw'okumala ekiseera nga'li mu kkomera ly'Amagye e Makindye.

Omulamuzi Guti amuzzeemu nti bino by'asaba biri mu mateeka wabula abisse mu buwandiike era bw'atyo kkooti n'agyongerayo okutuusa nga 28 omwezi guno lwebagenda okwongera okusomera Kayihura emisango emirala ate nga 4 omwezi ogujja lwebagenda okusalawo oba Kayihura akkirizibwa okweyimirirwa oba nedda.

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...