TOP

Kanyama wa Bobi Wine akwatiddwa

By Martin Ndijjo

Added 25th August 2018

POLIISI nab’ebitongole by’okwerinda ebirala baakutte kanyama wa Bobi Wine ayitibwa Eddy Ssebuwufu nebamutwala mu kifo ekitannamanyika.

Edd12 703x422

Eddy Ssebuwufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe

POLIISI nab’ebitongole by’okwerinda ebirala baakutte kanyama w'omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayitibwa Eddy Ssebuwufu nebamutwala mu kifo ekitannamanyika.

 

SSebuwufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe baamuggye ku Equotorial Parking mu kiro ekyakeesezza OLwomukaaga, bweyabadde acakala nebanne.

Ssebuwufu yali ne mukama we Bobi Wine mu kulonda kwa Arua kyokka ye yasobola okwemulula nadduka n’akomawo mu Kampala.

 

Omu ku baabadde ne Ssebuwufu ng’akwatinwa, Ronald Batanuka, amanyiddwa nga Ronnie Kawonawo ategeezezza nti baabadde mw'emu ku bbaala eziri mu kifo kino kyokka bweyalingizza wabweru, n’alengera kabangali za poliisi nga zisazeeko ekifo.

 

 ddy sebuwufu ku kkono amanyiddwa nga ddie utwe ngai ne obi ine Eddy Ssebuwufu (ku kkono) amanyiddwa nga Eddie Mutwe ng'ai ne Bobi Wine

 

Yayanguye okutemya ku banne basale amagezi okuva mu kifo ekyo nebasalawo bafulume babulewo. Bakkiridde wansi kyokka Ssebuwufu yabadde agezaako okulinnya mmotoka, abasajja abaabadde mu ngoye eza bulijjo nebamuvumbagira.

 

Baamunywezezza okukkakkana nga bamuyingizza mu mmotoka kika kya Super Custom eyasimbuliddewo ku sipiidi. Yawalekeddwako patuulo ttaano, era tebazzeemu kugirabako.

 

Batanuka agamba nti batuuseeko ku poliisi ya CPS ne Wandegeya okuzuula oba Ssebuwufu gyebamututte kyokka nga yonna taliiyo.

 

Ssebuwufu abadde yaakava okweyanjula ku kkooti ya Buganda ku misango ogwamuggulwako ne banne lwebekalakaasa nga bawakanya omusolo gwa mobile money ne 'social media'.

 

Tekimanyiddwa ngeri Ssebuswufu gyeyasimattuka ku kwatibwa mu Arua n’asobola okudda mu Kampala kyokka ab’ebyokwerinda baasigala bamulondoola okutuusa lwebaamukutte.

 

Omwogezi wa poliisi Emilian Kayima bweyatuukiriddwa yategeezezza nti tannamanya ku kyakukwatibwa kwa kanyama ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja