TOP

Kkooti egobye okusaba kwa Troy ku by'okutta Moze Radio

By Musasi wa Bukedde

Added 25th August 2018

kkooti eganye okusaba kwa Godfrey Wamala agambibwa okutta omuyimbi Mowzey Radio okweyimirirwa

Troy 703x422

Troy bwe yali nga yaakakwatibwa

KKOOTI enkulu mu Kampala egobye okusaba kw’omuvubuka Godfrey Wamala agambibwa okutta omuyimbi Mowzey Radio okweyimirirwa ku misango gy’obutemu gyavunaanibwa

Omulamuzi Jane Frances Abodo ye yagobye okusaba kwa Wamala amanyiddwa Troy ng’agamba nti tamuwadde nsonga ya ggumba lwaki ayagala okuva e Luzira ate n’abantu be yaleese okumweyimirira tebamatiza.

Yagasseko nti n’omusango Troy gw’aliko gwa naggomola ate n’ekkooti gye yatadde okusaba mu kiseera kino si y’entuufu kubanga n’e Ntebe gye yaddizza omusango kkooti eri ku ddaala lya kkooti enkulu (High court) wano kwe kumuwa amagezi ne bannamateeka be okusaba kuno bakukole mu kkooti e Ntbe.

 Tory mu kusooka yabadde asabye kkooti emuyimbule ku kakalu kayo asobole okufuna obujjajabi  era awooze ng’ava bweru.

Wamala agambibwa okutta omuyimbi Radio bwe baafuna obutakanya mu baala ya De- Bar e Ntebe ku ntandikwa y’omwaka guno. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...