TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ziizino ensonga 7 amagye kwe geesigamye okuvunaana Kayihura

Ziizino ensonga 7 amagye kwe geesigamye okuvunaana Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Ziizino ensonga musanvu Amagye kwegeesigamye okuvunaana Kayihura

Kal1 703x422

Kayihura

Amagye geeyambisizza obujulizi bwa basajja ba Gen. Kayihura abaasooka okukwatibwa kwe geesigamye okumuvunaana emisango esatu. Kayihura yavunaaniddwa okulagajjalira ebyokulwanyisa ebikozesebwa mu ntalo bwe yawa emmundu Abudallah Kitatta n’akabinja ka Bodaboda 2010; okutondawo ebitongole mu poliisi n’abiwa emmundu n’alemererwa okuzirondoola; n’okuyambako mu kuzzaayo e Rwanda ku mpaka, Abanyarwanda abawaah− hangukira mu Uganda abamu ne battibwa ate abalala ne baggulwako emisango gy’okwagala okutta Pulezidenti Paul Kagame ne basibwa mayisa. Amagye geesigamye ku sitatimenti ya Kitatta, Nixon Agasirwe Karuhanga, SCP Joel Aguma, n’abaserikale abalala abaakwatibwa.

Gattako n’obujulizi bw’omusajja, Ali Kabanda eyawandiikira Pulezidenti Museveni ebbaluwa ng’alumiriza Kayihura. Kitatta mu sitatimenti ye yategeeza nti, emmundu ebbiri ezaasangibwa mu mmotoka okuli pisito enzirugavu ne SMG, zaamuwebwa Kayihura n’amuweerako n’omuserikale Ngobi Sowali amukuume era ono ye yalina obuvunaanyizibwa ku mmundu ezo.

Ne Ngobi Sowali, mu sitatimenti yakkiriza nti yasindikibwa bakama be kye yayita “order from above” okukuuma Kitatta era emmundu ebbiri zaamuwebwa mu butongole ng’omuserikale. Obujulizi obulala bwa Nixon Agasirwe eyali akulira ekitongole ekikola ebikwekweto ekya Special Operations Unit.

Yakwatibwa n’avunaanibwa mu kkooti y’amagye okuwamba bannansi ba Rwanda n’abazza e Rwanda ku mpaka nga yeeyambisa pisito ne bbomu ezikasukibwa (grenade). Mu sitatimenti ye yajuliza nti bye yakola yabikolera ku biragiro bya bakama be. Abaserikale abalala, Joel Aguma eyali akulira Professional Standard Unit, D/ASP James Magada eyali akolera wansi wa Nixon Agasirwe, D/Sgt Abel Tumukunde naye yali akola ne Nixon kyokka nga yava mu Flying Squad, SPC Faizal Katende owa Flying Squad ne D/ CPL Amon Kwarisiima.

Bonna baalaga nti baakolera ku biragiro bya bakama baabwe. Mu kiseera ekyo, mukama waabwe yali Kayihura. Abantu abazzibwa e Rwanda abagguzza ku Kayihura emisango, baawambibwa nga October 25, 2013 e Kammengo ku lw’e Masaka. Omu ye Joel Mutabaazi eyali omukuumi wa Kagame n’addukayo.

Bwe baamuzzaayo e Rwanda ku mpaka, kigambibwa nti yattibwa. Omulala Jackson Mutabaazi naye yattibwa. Omulala Pte. Innocent Kaliisa No. AP987709 eyali mu ggye erikuuma Kagame, kigambibwa nti Agasirwe yamuwamba n’omuserikale omulala Abdul Ssemuju amanyiddwa nga Minana mu nga August 12, 2013. Mutabaazi yasooka kukwatibwa abasajja abeefuula nti bava mu poliisi y’ensi yonna nga bagamba nti ye n’abalala, baali beenyigidde mu bubbi bwa banka emu e Rwanda.

Minisita w’ebigwa bitaraze Musa Ecweru ye yamutaasa bwe yalaga empapula ze entuufu nti yali yaweebwa obubudamu mu Uganda. Bino okubeerawo, Mutabaazi yali anaatera okulinnyisibwa ennyonyi okuzzibwayo e Rwanda kyokka oluvannyuma lw’emyezi ebiri, yagwa mu mikono gya Nixon Agasirwe n’ekibinja kye e Kammengo era okuddamu okumuwuliza ng’ali mu mikono gya poliisi y’e Rwanda.

Webaamuddizaayo e Rwanda,yali yasaba ekitongole ekivunaanyizibwa ku banoonyi b’obubudamu mu nsi yonna ekya UNHCR okumufunira eggwanga eddala kubanga yali atidde nti ab’e Rwanda balina abantu abayinza okumuzzaayo. Obujulizi obwatwalibwa mu kkooti bulaga nti Nixon ne banne beeyambisa emmundu pisito nnamba M00067 ne kabbomu k’omu ngalo mu kukwata abantu abo.

Nixon n’abaserikale abalala bwe bavunaanibwa, baali mu kitongole ekikola ebikwekweto bya poliisi eby’enjawulo (Special Operations Unit) okuggyako Joel Aguma. Ekitongole ekyo kyanokoddwaayo mu kkooti y’amagye nti kye kimu kw’ebyo Kayihura bye yatondawo n’abiwa emmundu n’alemererwa okuzirondoola ne zikozesebwa mu bikolwa ebikyamu.

EBBALUWA YA ALI KABANDA; Nga May 12, 2017, eyali omuserikale wa Flying Squad, Ali Kabanda yawandiikira Pulezidenti Museveni ebbaluwa mwe yayogerera bye yayita ebikolobero mu poliisi n’engeri gy’alowooza nti nkyamu Kayihura gy’akuttemu ensonga za poliisi. Kabanda yategeeza nti y’omu ku baserikale abaatuukirirwa omuyambi wa Kayihura ayitibwa Jonathan Baroza n’abawa omulimu gw’okukwata Abanyarwanda abanoonyi b’obubudamu.

Mu bbaluwa eyo, alaga alaga abantu b’e Rwanda be baakwata okwali eyalina bizinensi y’okwoza engoye n’okuzigolola e Kinoni. Agamba nti baakozesa emmotoka ssatu okuli Ipsum bbiri ne Land Cruiser. Baamuvuga ne bamutwala Kabale – Ntungamo ne bamukwasa abajaasi ba RPF abaali balindiridde.

Alumiriza nti bino byonna Kayihura yabimanya. Agamba nti waliwo Abanyarwanda abaakwatibwanga e Kenya ne Tanzania ne bayingizibwa mu Uganda n’oluvannyuma ne bongerwayo e Rwanda. Waliwo Abanyarwanda 10 abaakwatibwa e Mubende, Kiboga, Kajjansi, Masaka, Mbarara n’e Hoima ne babazzaayo e Rwanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...