TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bawambye omuwala e Nansana ne basaba obukadde 5

Bawambye omuwala e Nansana ne basaba obukadde 5

By Joseph Makumbi

Added 27th August 2018

ABAZIGU bawambye omuwala e Nansana ne basaba aba famire ye obukadde butaano bwe baba bamwetaaga nga mulamu.

Kwatayo 703x422

Jenny Kaitesi eyawambiddwa.

Baamuwambye agenda kugula bikozesebwa mu kukola keeki ze yabadde atwala ku Auto Spar mu kusondera Abdulahuman Lusiba ow’omwaka ogumu n’ekitundu mutabani w’omukozi wa Bukedde Mahd Lusiba ssente z’obujjanjabi.

Jenny Kaitesi omutuuze w’e Nansana, yawambiddwa ku Lwomukaaga ku makya mu bitundu by’e Nansana ku Masitoowa.

Okusinziira ku muganda we, Fatia Kaitesi, baabadde bagenda bombi mu kusonda ssente ku Auto Spar e Munyonyo.

Agamba nti bwe yamukubidde essimu, yamugambye nti yabadde alina keeki ze yabadde ayagala okutwala mu kifo awaabadde okusonda ssente zeeyambisibwe okuweza obukadde 200 ezeetaagisibwa okutwala omwana ono e Buyindi okujjanjabibwa.

Yagasseeko nti, bwe yatuuuse ewuwe, yamugambye nti yabadde alina ekirungo kye yabadde yeetaaga okugula (Icing sugar) n’agenda akinone ku Masitoowa.

Agamba nti kyamutwalidde ebbanga nga tadda kwe kumukubira n’amugamba nti yabadde anaatera okukifuna.

Essaawa zaabadde mu 3:00 ez’oku makya. Bwe yalabye takomawo kwe kuddamu okukuba ku ssimu nga tagikwata n’amuweereza obubaka obuwandiike nti Icing sugar amuleke ne keeki baziveeko nga teri amuddamu.

Akawungeezi nga bamalirizza okusonda ssente, baafunye obubaka okuva ku ssimu ya Jenny nga bubategeeza nti, bwe baba bamwagala nga mulamu, babawe obukadde butaano.

Fatia yagambye nti yasoose kulowooza nti osanga essimu ya muganda we baagibbye ng’ababbi be bagizannyirako kwe kugenda ewuwe alabe oba gyali naye yasanzeeyo mukozi we n’amutegeeza nti okuva lwe yagenze ku makya tannakomawo.

Awo, we baatandikidde omuyiggo ne basooka bagendako ku CPS mu Kampala abaabagambye basooke ku poliisi e Nansana gye bagguddewo omusango gw’okuwambibwa kw’omuntu waabwe.

Abaamuwambye baasindise ku ssimu akatambi k’omuwala ng’asibiddwa emimwa ng’alabika yabadde atulugunyiziddwa ne babagattirako n’obubaka nga beewaana nga bwe baabadde bamusobezzaako.

Baabagambye nti ssente bwe ziba zibabuze, omulambo bagusange e Katende ku lw’e Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”