TOP

Bagenero 2 be batutte mu kkooti y’amagye

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Bagenero 2 be batutte mu kkooti y’amagye

Leb2 703x422

Gen. Ssejjussa

Kale Kayihura ne David Sejusa (Tinyefuza) be Bagenero abajjuvu bokka abaakavunaanibwa mu kkooti y’amagye. Ekyenjawulo ku bombi, Tinyefuza yaleetebwa mu kkooti ku mpingu era yayisibwa mu kifo kya lukale.

Kyokka Kayihura yayisiddwa mu kifo kye kikungu awayita akulira kkooti eno eyatudde e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti. Tinyefuza yayisibwa ng’omuntu wabulijjo. Engoye nazo yayambala zabulijjo.

Kyokka Kayihura yayambadde ekyambalo kye ekya genero n’ennyota ze zonna era yayisiddwa mu bitiibwa ebyo. Yakkiriziddwa okujja n’akasawo k’ekikungu omwabadde ebintu bye okuli peni n’empapula. Kayihura akomawo mu kkooti enkya okusaba okweyimirirwa.

Yapangisizza balooya abagambibwa okusinga okuba ab’ebbeeyi mu Uganda aba Kampala Associated Advocates. Bano ne Museveni be yapangisa mu misango gy’ebyokulonda.

Ekirala mu bagenda okumweyimirira kuliko bofiisa Maj. Gen. James Mugira eyali akulira ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI ne Maj. Gen. Sam Kavuma Amyuka omuduumizi w’amagye g’oku ttaka. Ofiisa w’amagye yenna ali ku ddaala ly’awaggulu okweyimirira omuntu asooka kufuna lukusa kuva eri omuduumizi w’amagye.

Kino kiwa Kayihura enkizo okusaba kwe okuyitamu. Tinyefuza yavunaanibwa mu 2015 emisango gy’okwebulankanya ku mulimu n’okwetaba mu byobufuzi ng’akyali mu magye. Kkooti yali ekulirwa Maj. Gen. Levy Karuhanga. Yapangisa balooya okuli David Mushabe, Eria Lukwago ne Ladislas Rwakafuuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?