TOP

Paasita bamulumirizza ku mivuyo gy’ettaka

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

ABATUUZE balumirizza Paasita w’abalokole okukozesa ow’amagye okwagala okubba ettaka lyabwe. Poliisi emuyimirizza okuzimba okutuusa nga bamaze okugonjoola ensonga.

Paasita 703x422

Abdul Ddamulira

Ku Lwokutaano, poliisi y’e Wandegeya yayitiddwa bukubirire okutaawulula enkaayana wakati w’abatuuze b’omu Kibe Zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe ne Abdul Ddamulira, Paasita w’ekkanisa ya Freedom Chapel esangibwa mu kitundu.

Entabwe yavudde ku Ddamulira kuleeta abazimbi ne batandika okusimba ebikondo mu ttaka, abatuuze lye bagamba nti si lirye.

Joseph Nsabimana, DPC w’e Wandegeya yakubye olukiiko abatuuze mwe baategeerezza nga Ddamulira bw’alina omuserikale w’amagye, Lt. Col. Steven Mugisha gwe yeeyambisa okubatiisatiisa.

Godfrey Bogere, omu ku bakaayana ne Ddamulira yategeezezza nti paasita alina enkaayana ne bannannyini ttaka abamwetoolodde ng’era buli lwe wabaawo obutakkaanya, aleeta Mugisha n’abatiisatiisa.

Ddamulira yategeezezza olukiiko nti alina Desimoolo 67 n’endala 12 mu kifo awali enkaayana ze yagula mu 2009 ku bantu abenjawulo okuli Grace Wampamba.

Yagambye nti Bogere n’abalala abalina ettaka eryetoolodde amaka ge n’ekkanisa bazze bamukolako effujjo nga bamulemesa okuzimba ekikomera. Lt. Col. Mugisha gwe balumiriza okuyamba ku Ddamulira yabyegaanyi.

DPC Nsabimana yasabye abatuuze okuba abakkakkamu n’ategeezza nti balina okufuna omupunta wa gavumenti apime ettaka buto okumalawo enkaayana zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...