TOP

Abafiiridde mu bya Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Abafiiridde mu bya Bobi Wine

Keb2 703x422

Ssekiziyivu ow’e Mityana ne Kawuma yattibwa mu Arua.

ABANTU abalala babiri abaakubwa amasasi mu bwegugungo ku bya Bobi Wine bafudde. Kati omuwendo gw’abattiddwa okuva Bobi Wine lwe yakwatibwa gulinnye okutuuka mu bantu musanvu. Lawrence Jjingo ow’e Mityana ne Racheal Ayebazibwe omuyizi mu yunivasite y’e Kyambogo be baafudde.

Ayebazibwe 23, yafiiridde mu Victoria Hospital e Bukoto gy’abadde ajjanjabirwa ekiwundu ky’essasi eryamukubiddwa ku Mmande nga August 20, 2018 mu bwegugungo mu Kampala. Omwogezi wa yunivasite y’e Kyambogo, Jennifer Sibbo yagambye nti Ayebazibwe abadde amalirizza okusoma ng’alinze kutikkirwa diguli ye mu byensimbi mu December w’omwaka guno.

Essasi lyamukubye ku mutwe ne lituuka ku kawanga. Sibbo yagambye nti ekisinga okuluma, omuwala ono teyali mu bya kwekalakaasa. Essasi nti lyamusanga we yali asula e Kyebando okumpi ne Kamwokya. Abaserikale mu kugoba abaali beekalakaasa e Kamwokya nga bawakanya okusiba Bobi Wine baakuba amasasi era agamu ne gawaba nga kwe kuli n’eryakuba Ayebazibwe. Lyamukuba ayoza ngoye ze.

Yafudde ku LwamukaagaAyebazibwe waaluganda lwa Dr. Loy Gumisirize, omu ku basomesa b’e Kyambogo asomesa ebyafaayo era bategese okumusabira olwaleero ku St. Kakumba Chapel e Kyambogo.

Obwegugungo bwatandika nga August 13, 2018 oluvannyuma lw’okukwata Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ne banne okuli Francis Zaake, Kassiano Wadri, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga, Micheal Mabikke, John Mary Ssebuufu n’abalala era okwegugunga kuzze kusaasaana mu bitundu naddala mu Kampala, Jinja, Mukono ne Mityana.

OW’E MITYANA AFUDDE AKUKKULUMA Lawrence Jjingo 45, omutuuze w’e Busuubizi mu Mityana omu ku basaabaze abaali mu takisi eyakubwa amasasi naye yalese abantu mu kiyongobero oluvannyuma lw’okumujjanjabira wiiki nnamba wabula ne birema. Jjingo yali mu takisi omwafiira omusuubuzi Sam Ssekiziyivu essasi gwe lyattirawo wabula abalala bataano omuli ne Jingo ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.

Jjingo naye yafudde ku Lwomukaaga. Bwe yabadde tannafa, Jjingo gwe twasanze ku kitanda e Mulago yatutegeezezza nti essasi lyamukwata mu lubuto ne limuyuza ekyenda. Yabadde aweereddwa obukadde butaano okuva ewa Pulezidenti Museveni zimuyambe okugula eddagala n’ebyetaagisa wabula yabadde atutegeezezza ku Lwokutaano nti ssente ezo tezimala.

Abasawo baabadde baamugambye nti kigenda kutwala emyezi mukaaga okuzzaayo ekyenda kino mu lubuto kyokka embeera yatabuse ku Lwokutaano ekiro n’afa ku Lwomukaaga.

Yabadde era alaze obutali bumativu ku ngeri abaserikale gye batannakola kimala kukangavvula baserikale baabwe abaabakubamu amasasi ate nga tebaali mu bya kwekalakaasa.

Bano baali mu takisi eyali etambuza ab’e Ssingo nga bagenda ku mupiira gw’amasaza kyokka abaserikale ne balowooza nti bali mu kwekalakaasa kw’ebya Bobi Wine ne Zaake ne babakubamu amasasi.

AB’E GOMBA BATADDE AKAKA NGA BAZIIKA OWAABWE

Omuntu omulala eyattiddwa amasasi ye Vicent Sserungaya, omuvuzi wa bodaboda era omutuuze ku kyalo Lusenke-Bukalagi mu Kanoni Town Council mu disitulikiti y’e Gomba. Bobi Wine bamuzaala ku kyalo Wassinda mu Kanoni Town Council era weesudde kiromita nga ssatu okuva e Bukalagi we battidde Sserungaya.

Sserungaya yakubiddwa amasasi ku Lwokuna, oluvannyuma lw’obwegugungo obwabaluseewo e Bukalagi amangu ddala nga kkooti y’amagye eggyeeko Bobi Wine emisango gy’emmundu, kyokka Poliisi n’emukwata buto n’atwalibwa mu kkooti yaabulijjo, era omulamuzi Yunus Ndiwalana n’amusomera omusango ogwokulya mu nsi ye olukwe.

Mu kumuziika e Bukalagi eggulo, abatuuze baavumiridde abaserikale nga bagamba nti baamulumba mu nnyumba ye nga yeebase ekiro ne bamukonkona era bwe baalaba nga tavaayo ne batandika okukuba amasasi mu nnyumba.

Bwe yatya nti amasasi gayinza okutwaliramu abaana be, kwe kuggulawo era nti awo we baamukubidde amasasi agaamumalirizza. Joseph Musana omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Katonga yategeezezza nti lipoota gye baafunye yalaze nti Sserungaya yaggyiddeyo abaserikale ejjambiya nga bagenze okumukwata. Wabula kino abakungubazi baakiwakanyizza.

Musana yategeezezza nti oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya kw’abatuuze, baasazeewo omuserikale eyakubye Sserungaya essasi akwatibwe nga bwe banoonyereza. Omuserikale akuumirwa ku poliisi e Mpigi.

Abalala abattiddwa kuliko gwe battidde e Katwe ne gwe battidde mu Kampala wakati kw’ossa ne Yasin Kawuma gwe battira mu mmotoka ya Bobi Wine eyeekika kya Tundra gye yali avuga akawungeezi ka August 13, 2018 mu Arua nga bawunzika kampeyini z’okujjuza ekifo ekyalimu Ibrahim Abiriga era ne kiwangulwa Wadri eyali awagirwa Bobi. Amagye, poliisi ne Pulezidenti Museveni baasaasidde abaakubiddwa amasasi era Museveni awo we yasinzidde okusindika abakungu be okukubagiza abaafiiriddwa n’okuwa abalwadde obuyambi. Ku nkomerero ya wiiki ewedde, abaakubiddwa amasasi mu takisi e Mityana baaweereddwa obukadde 5 buli omu ate famire ya Ssekiziyivu n’eweebwa obukadde 10.

BALOOYA BAKEDDE GULU KUSABA KWEYIMIRIRA BOBI WINE

Ttiimu ya bannamateeka ba Bobi Wine ne banne 32 abaasindikiddwa ku limanda bakedde mu kkooti enkulu e Gulu okussaayo okusaba bakkirizibwe okweyimirirwa.

Bobi Wine alina ttiimu ya bannamateeka 15 okuli; Medard Seggona, Asuman Basalirwa, Erias Lukwago, Ladislaus Rwakafuzi, Nicholas Opio, Lillian Drabo, Benjamin Katana, Andrew Karamagi, Anthony Wameli, Kenneth Kakande, Richard Lumu n’abalala era abasinga ku bano baasuze Gulu nga beetegese okuwaayo okusaba kwabwe olwaleero.

Basalirwa yagambye nti baasuze beeteeseteese bulungi okuwaayo okusaba mu kkooti enkulu e Gulu ekulirwa omulamuzi Stephen Mubiru nga baagala okweyimirirwa kwa Bobi Wine ne banne 32 bwe bagguddwaako emisango egy’okulya mu nsi yaabwe olukwe kukkirizibwe. Basalirwa yagambye nti buli omu ku basibe 33 okuli ne Bobi Wine, balooya bamutegekedde empapula ezize.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo