TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye ne Poliisi batangaazizza ku biriwo mu ggwanga

Amagye ne Poliisi batangaazizza ku biriwo mu ggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Amagye ne Poliisi batangaazizza ku biriwo mu ggwanga

Lip1 703x422

Ochola, Muhoozi ne Byabasaija e Naggulu.

AMAGYE ne poliisi bakebedde embeera y’ababaka Bobi Wine ne Francis Zaake ne bazuula nti embeera gye balimu teyeeraliikiriza yadde balina obuvune.

Akulira abasawo b’amagye, Dr. Brig. Ambrose Musinguzi bwe yabadde mu kafubo k’abeebyokwerinda okwabadde omuduumizi w’amagye, omuduumizi wa poliisi n’akulira amakomera yagambye nti, Bobi Wine baamufuna nga August 16, 2018 mu nkambi e Makindye era omusawo w’enkambi eno, Dr. Gideon Nuwagira n’amukebera ng’alina obulumi ku ludda lw’akabina ku kkono obwali bumulemesa okutambula obulungi. Kyokka Dr. Moses Byaruhanga akulira abasawo ba poliisi yagambye nti, baakyalidde Zaake e Lubaga ne bakizuula nti talina buzibu bw’amaanyi ng’aba famire bwe babyogera.

Dr. Musinguzi yagambye nti, beekebejja Bobi Wine okulaba oba alina omusaayi ogwali gulina we gukwatidde ekitole, eriiso erimyufu nalyo baalyekebejja okulaba oba lyalimu omusaayi n’ebitundu bye eby’omubiri munda okulaba oba byalina engeri gye byali bikoseddwaamu nga bakozesa tekinologiya ow’ekikugu ne kizuulwa nti teyalina buvune bw’amaanyi okuggyako okulumizibwa omubiri.

N’akulira amakomera, Johnson Byabasaija yagambye nti, Bobi Wine bwe baamubakwasizza, baamututte mu Racho Hospital abasawo okumwekebejja, yabadde alumizibwa mu kugulu nga tasobola kutambula. Yagambye nti, balindiridde okufuna ekituufu lwaki tasobola kutambula bulungi okuva eri abasawo.

Yagambye nti, abantu 33 abaamuweerezebwa okuva mu kkooti abalina mu kkomera era bonna abalumizibwa baabakebedde nga tebalina buzibu bw’amaanyi ne baweebwa obujjanjabi. Kyokka Eddie Yawe, mukulu wa Bobi Wine yagambye nti, muto we embeera gy’alimu yeetaaga obujjanjabi obwamaanyi.

Singa tekikolebwa, yandifuna obulemu obw’olubeerera. “Bobi Wine tasobola kwetambuza nga tebamukwatiridde wadde yaweebwa omuggo gumuyambeko.” Bridget Namirembe mukyala wa Zaake n’aba famire ye baagala omuntu waabwe atwalibwe ebweru w’eggwanga ajjanjabibwe. Bbo bagamba nti embeera yeeyongera kubeera mbi buli lunaku.

AMAGEZI GAKYABEESIBYE KU MMUNDU EZAAKWATIBWA

Abeebyokwerinda baasisinkanye bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naggulu ku Lwomukaaga, omuduumizi w’amagye Gen. David Muhoozi n’ategeeza nti, emmundu ezigambibwa nti zaakwatibwa mu kisenge kya Bobi Wine, zikyali mu mikono gy’abanoonyereza.

Yagambye nti, Bobi Wine bwe baaweereza fayiro ye ew’omuwaabi wa Gavumenti Mike Chibita, yabawabula obutagenda mu maaso na misango gya mmundu kubanga waliwo omusango omunene ogw’okulya mu nsi olukwe gwe guba gumuvunaanibwa.

Muhoozi yagasseeko nti, baakiraba nga baali bajja kuba nga bamubonereza emirundi ebiri ku musango gwe gumu kwe kusalawo okumuggyako ogw’okusangibwa n’emmundu mu bukyamu.

Yagasseeko nti, oludda oluwaabi lusobola okusalawo okuggya ku muntu yenna avunaanibwa emisango we lubeera lwagalidde n’agamba nti kijja kusinziira ku banoonyereza okusalawo oba bavunaana Bobi Wine omusango gw’okusangibwa n’emmundu mu kkooti ezaabulijjo. Kkooti y’amagye e Gulu ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, yaggye ku Bobi Wine emisango gy’okusangibwa n’emmundu mu bukyamu.

BANOONYEREZA KU BAATULUGUNYA BOBI WINE NE ZAAKE Omuduumizi wa UPDF

Gen. David Muhoozi, yagambye nti, si be baatulugunya Bobi Wine ne Zaake era beetaaga okumanya abaabatulugunya kubanga si nkola y’amagye okutulugunya abasibe. Byaruhanga yagambye nti, baakyaliddeko Zaake mu ddwaaliro e Lubaga ne bamwekebejja nga bakozesa tekinologiya ow’ekikugu ne bakizuula nti, alina obuvune butono obugenda okuwona mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sib1 220x290

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera;...

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Cam1 220x290

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa...

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

Cranesweb 220x290

Magogo atwala Cranes mu World Cup...

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, aweze nga bw'agenda okukola ekyafaayo ng'atwala Cranes mu World Cup omulundi...

Lwe 220x290

Abadde alondoola abatta mwannyina...

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

Eriksen 220x290

PSG eyingidde olwokaano lw'okugula...

Real Madrid ye yasoose okwesowolayo okugula Eriksen wabula kati ne PSG eyingidde olwokaano.