TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyafudde nga bamulongoosa aniya aggazza eddwaliro

Eyafudde nga bamulongoosa aniya aggazza eddwaliro

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Eyafudde nga bamulongoosa aniya aggazza eddwaliro

Kib1 703x422

Abatuuze nga balumbye akalwaliro mwe baalongooserezza omwana n’afa.

ABATUUZE b’e Kirinnyabigo e Kawanda mu Nansana munisipaali balumbye akalwaliro ka Cork Medical Centre nga balumiriza okulongoosa omwana wabula bw’abafuddeko ne batwala omulambo ne bagusuula mu ggwanika e Mulago.

Poliisi yatandise okunoonya Siraje Kabaale nnannyini kalwaliro kano akasangibwa e Kawanda abayambeko okunnyonnyola ebyabaddewo. Omwana Sam Ssebunnya 12 abadde asoma P7 ku City Grammar Primary School e Kawanda ye yafudde.

Kigambibwa nti yatwaliddwa mu kalwaliro ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa “Aniya” kyokka mu kugezaako okumulongoosa n’afa. Abatuuze baabadde balumiriza abasawo mu kalwaliro nti baabadde bagezaako okulongoosa omwana ate nga tebalina busobozi na bikozesebwa byetaagisa.

Harriet Nampanga, maama w’omwana, yategeezezza nti abasawo mu kalwaliro kano baamusabye emitwalo 30 balongoose “Aniya” nga bagamba nti y’avaako omwana okulumizibwa mu lubuto.

Nampanga yattottodde ebyaliwo n’agamba nti: Ku ssaawa 7:00 ezemisana, omusawo yatandika okulongoosa omwana wabula yafiira mu bulumi kuba omusawo teyasooka kumusannyalaza ng’agenda okumulongoosa era yafa alaajana nti “Maama jjangu onnyambe, ekiso nga kinene nnyo!” Omusawo nti yasooka kugoba maama mu kasenge.

Nampanga yagambye nti: Oluvannyuma lw’okulaajanira ebbanga, omwana yasirika omulundi gumu era ne mbuuza musawo Kabaale ekigenda mu maaso, wabula n’ahhumya nti, “Omwana yeebase, naye ‘operation’ (okulongoosa) ekyagenda mu maaso”. Yattottodde nti abasawo baamugamba addeyo eka ategeke ebyokulya akomewo ku ssaawa nga 12:00 ng’omwana azuukuse, wabula yagenda okukomawo ng’enzigi zonna ziggaddwa.

Yabuuza omuwala eyali asigadde okumulabirira eddwaaliro n’amutegeeza nti omwana bamututte Mulago gy’aba abasanga. Amasimu g’abasawo baagakubako nga tegaliiko era ne banoonya mu waadi z’e Mulago eziwerako ng’omwana taliiyo okutuusa lwe baaweebwa amagezi bakebereko mu ggwanika era eyo gye baasanze omulambo. Baabuuzizza ab’eggwanika eyaleese omulambo, wabula ne batafuna kuddibwamu kulambulukufu.

Abatuuze nga bakulembeddwa Fred Kisitu bagambye nti Gavumenti esaana okwongera amaanyi mu bikwekweto ku bulwaliro n’abasawo kubanga bangi tebalina bisaanyizo. Ssentebe w’ekitundu kino, Julius Kinobe yasabye abatuuze obutamala gagenda mu buli malwaliro agamerukawo n’abawa amagezi okugenda mu ga gavumenti agalina abasawo abaasunsulwa obulungi.

Atwala Poliisi y’e Kawanda, Emily Nebokhe yagambye nti poliisi etandise okunoonyereza okuzuula oba omwana yafiiridde mu kalwaliro kano oba Mulago.

EYAKWATIDDWA ANNYONNYODDE Ku Lwokutaano, Dorah Nakalembe akolera ku kalwaliro kano yakwatiddwa ku bigambibwa nti ye yatwala Ssebunnya mu ddwaaliro e Mulago n’asuulira abasawo omulambo.

Nakalembe yagambye nti ye abadde akola gwa kuyonja mu kalwaliro kano wabula yabadde yaakatuuka awaka mukama we Kabaale n’amuyiita ng’amugamba nti afunyeemu obuzibu era n’amulagira okutwala omwana mu ddwaaliro e Mulago nga bw’atuukayo alina okumuwa abasawo olumala aveeyo naye kye yakoze era teyategedde by’azzeeko.

Poliisi yagguddewo fayiro ku kufa kwa Ssebunnya ne baggalira Nakalembe nga bwe banoonya Kabaale. Abaddukanya Nansana Munisipaali nabo bazze ne baggala akalwaliro oluvannyuma lw’abatuuze okukalumba nga balaga obutali bumativu ku nfa y’omwana. Omwana yaziikiddwa e Gomba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke