TOP
  • Home
  • Buganda
  • Museveni akkirize okuteesa n’ebibiina ebimuvuganya - FDC

Museveni akkirize okuteesa n’ebibiina ebimuvuganya - FDC

By Muwanga Kakooza

Added 27th August 2018

"Tetwagala kukwata mmundu wadde ffe abamu tuzimanyi (okuzikuba). Ku lw’obulungi bw’emiti emito tusaba akkirize enteeseganya.Tulina okuzuula amagezi aganaatwala eggwanga lino mu maaso mu mirembe. Tetwagala kusika muguwa," Biriggwa bwe yagambye.

Biriggwa2 703x422

Ssentebe wa FDC Wasswa Biriggwa (kkono), pulezidenti w’ekibiina Patrick Amuriat n’omumyuka wa Ssabawandiisi Harold Kaija nga bali mu lukung’ana lwa bannamawulire e Najjanankumbi

FDC esabye Pulezidenti Museveni akkirize okuteeseganya n’ebibiina ebimuvuganya ku mbeera eriwo mu ggwanga  kiyambe Uganda  obutaddamu kuyiwa musaayi olw’okusika omuguwa kw’ebyobufuzi  n’obusungu obweyongera mu bantu buli lukya.

FDC eyagala enteeseganya zino ziveemu okukolebwa kwa Konsityusoni empya ekkiriziganyizibwako enjuyi zonna n’empenda zitemebwe  okulaba ng’eggwanga likyusa obukulembeze mu mirembe n’erabula nti awatali kino n’okulonda kwa 2021 abamu kwe batunuulidde temugenda kuva kalungi.

Ssentebe w’ekibiina kino, Omulongo Wasswa Biriggwa eyabadde n’abakungu baakyo okwabadde Pulezidenti Patrick Amuriat n’omumyuka wa Ssaabawandiisi, Harold Kaija bino baabitegeezezza bannamawulire e Najjankumbi ku lw’e Ntebe.

Amuriat mu ngeri yeemu yagambye nti okuteebwa kwa Bobi Wine ne banne abakwatibwa olw’obuvuyo obwali mu Arua tekigenda kuggya bannakibiina kino ku mulamwa gwa kussa kazito ku Pulezidenti Museveni okulaba ng’awaayo obuyinza.

Biriggwa yagambye nti waliwo ekirowoozo ky’enteeseganya nga Sweden ye yali eziwomyemu omutwe emabegako kyokka ne kigwa butaka. N’asaba enteeseganya zitandike mu bwangu okutaasa eggwanga okudda mu ntalo.

‘’Tetwagala kukwata mmundu wadde ffe abamu tuzimanyi (okuzikuba). Ku lw’obulungi bw’emiti emito (Museveni baayita abazzukulu) tusaba akkirize enteeseganya. Tulina okuzuula amagezi aganaatwala eggwanga lino mu maaso mu mirembe. Tetwetaaga kusika muguwa,’’ Biriggwa bwe yasabye.

Amuriat yasabye Pulezidenti Museveni akikkirize nti eggwanga liyinza okufuuka omuyonga singa embeera etambula nga bweri. N’agamba nti abavubuka abasinga abali mu Uganda tebalina ssuubi basobola okukola kyonna kye baagala. ‘’Abantu bakwatibwa bubi. Twagala okutuula tulabe ekyavaako eby’entalo z’e  Luweero, ekyali e Mukura mu Teso, e Kasese n’awalala okulaba nga tebiddamu,’’ bwe yagambye.

Yalabudde bannamagye ne poliisi okukomya effujjo ku bantu. Yagambye nti enteeseganya zisobola okwenyigirwamu ebibiina ebivuganya, bannaddiini n’abataka.

Ku ky’okubonereza banna FDC abaagala okuwagira Bruce Musema mu Arua ne Eunice Namatende e Bugiri, Amuriat yagambye nti bammemba bakyalina ebiwundu ku mutima olw’okutulugunyizibwa abebyokwerinda n’agamba nti ekibiina tekisobola kubakangavvula. Kyokka yagambye nti wassiddwaawo akakiiko ka bantu musanvu okutereeza embeera y’enjawukana zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa