TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akkirizza okutta omusomesa n’amuziika mu ssabo

Akkirizza okutta omusomesa n’amuziika mu ssabo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Akkirizza okutta omusomesa n’amuziika mu ssabo

Lop1 703x422

POLIISI ng’eyita mu kitongole kyayo ekya Flying Squad ekutte omusajja agambibwa okwetaba mu kutta omusomesa era Muganzi. Julius Ssemanda agambibwa okuba omusawo w’ekinnansi yakukunuddwa Namuganga mu Mukono gy’abadde yeekwese okuva lwe yatta Allen Nakiyingi 30, eyali omutuuze w’e Kimwanyi mu Munisipaali y’e Kira nga musomesa mu ssomero lya St. Agnes Nursery and Primary School ku kitundu kye kimu .

Okukwatibwa kyaddiridde abaserikale okumulinnya akagere ne bamanya ekitundu mwe yabadde yeekwese ne bagendayo ku Lwokutaano. Baamututte ku CPS n’ayogera engeri gye yattamu Nakiyingi n’okutuuka okumuziika mu nnyumba ku kyalo Kirolo e Matugga.

Ssemanda ku CPS yabuulidde abaserikale nti yatta Nakiyingi ng’alina munne amuyambako (naye anoonyezebwa) ne bamusala obulago oluvannyuma ne bamuggyamu olulimu nga balina emikolo gye baagala okutuukiriza. Oluvannyuma baasalawo okuziika omulambo gwe mu nnyumba poliisi mwe yagusanga nga wayise wiiki ssatu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yategeezezza nti Ssemanda yakkirizza nga bwe yatta Nakiyingi kuba mu kunoonyereza poliisi kwe yakola, kulaga nga yasembayo okuba naye nga July 29, 2018 okutuusa lwe baasanga omulambo mu nnyumba.

Yagambye nti nga July 30 2018, muganda wa Nakiyingi, Nalunkuuma yagenda ku poliisi n’aggulawo omusango gw’okubula ekyavaako okumukwata ng’ono ye yatwala poliisi ku kyalo Kirolo, Ssemanda we yali asula gye baasanga omulambo nga guziikiddwa mu nnyumba nga August 7, 2018 nga gutandise okuvunda.

Oluvannyuma gwatwalibwa e Mulago okwekebejjebwa n’oluvannyuma ne gukwasibwa abooluganda. Ku Lwomukaaga nga August 25, 2018 Ssemanda yatwaliddwa mu maaso g’akulira ekitongole kya Flying Squad, Peter Kakonge n’akkiriza bwe yatta Nakiyingi ne bamusalamu olulimu ng’ayambibwako munne

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo