TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bannaddiini mukunge abantu okukola - Museveni

Bannaddiini mukunge abantu okukola - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

PULEZIDENTI Museveni asabye bannaddiini okukubiriza abagoberezi baabwe okubaako ke beekolera okweyimirizaawo mu byenfuna baleme kwemalira ku kubabuulira njiri yokka.

Kwatako 703x422

Ssekandi (mu ssuuti), omusumba, Damiano Guzzetti n’abaweereza ba Klezia abalala ku mukolo.

Museveni era asiimye bannaddiini olw’okuyamba ku Gavumenti okussaawo ebintu ebiyamba okukyusa embeera zaabwe okugeza amasomero n’ebirala n’akubiriza n’abavubuka okweyambisa pulogulaamu z’enkulaakulana Gavumenti z’ebateereddewo okweggya mu bwavu.

Bino byabadde mu bubaka obwamusomeddwa omumyuka we, Edward Kiwanuka Ssekandi ku mukolo gw’okukuza emyaka 50 bukya kibiina ky’abaminsane ekya, “Religious Missionary Institute of the Apostles of Jesus e Natinget, Moroto mu Karamoja kitandikibwawo.

Okusinziira ku musumba w’essaza ly’e Moroto, Damiano Guzzetti, ekibiina kino kyatandikibwawo Abaminsane Abayitale mu 1968 era kye kyasooka okusomesa eddiini y’Obukatolikiti e Karamoja.

Museveni yagambye nti gavumenti okuggya emmundu ku Bakaramoja kiyambye ekitundu okufuna emirembe n’enkulaakulana. Pulezidenti yawaddeyo obukadde 20 olw’okuzimba ekifo awaterekebwa ebitabo by’ekigo. N’agamba nti NRM egenda kusigala ku mulamwa gw’okukuuma eddembe ly’abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...