TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. esseewo etteeka ekkakkali ku basaddaaka abaana-Mulamuzi

Gavt. esseewo etteeka ekkakkali ku basaddaaka abaana-Mulamuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Gavt. esseewo etteeka ekkakkali ku basaddaaka abaana-Mulamuzi

Gub1 703x422

Kayiira (ku kkono) ng’akwasibwa Chibita (wakati) engule. Ku ddyo ye Sewakiryanga owa KCM mu katono ye Mutonyi

OMULAMUZI wa kkooti enkulu e Mukono, Margaret Mutonyi asabye Palamenti okwongera okumyumyula mu mateeka agalwanyisa okusaddaaka abantu. Agambye nti Palamenti yeetaaga okulowooza ne ku kuyisa etteeka eriwera amasabo kubanga emisango mingi egyekuusa ku kusaddaaka abaana n’abantu abakulu gibeera n’akakwate n’amasabo.

Yagambye nti assa ekitiibwa mu ddagala ly’ekinnansi, wabula amasabo agatambulira ku lubaale, emmandwa n’empewo ezikolera mu nzikiza, talaba kye byongera ku ggwanga okuggyako okwerimbikibwamu abamenyi b’amateeka abasaanyaawo obulamu bw’abantu. Era amasabo ago ayagala bagayiseeko etteeka erigawera wasigalewo batabuzi ba ddagala era nabo nga bakolera mu musana nga n’eddagala lyabwe litundibwa mu maduuka agalina ne layisinsi.

Omulamuzi Mutonyi yabadde ku mukolo ogwategeddwa okubangula abantu ku kabi akali mu kusaddaaka abaana n’okukukusa abantu ogwategekeddwa ekibiina ky’obwannakyewa ekya Kyampisi Childcare Ministries (KCM) ogwategekeddwa ku Serena ku Lwokutaano.

Gwatuumiddwa “Hope Event” nga kyesigamizibwa ku mwana Hope Resty Nakirijja eyasimattuka abaali bamusaddaaka e Rakai wabula n’agongobala olw’ebikolobero bye baamukolerako mu ssabo. Oluvannyuma lw’emyaka munaana, omusamize Stephen Wasswa yasingibwa omusango n’asibwa emyaka 45.

Mutonyi yabadde attottola by’ayiseemu okuva lwe yasalawo okuyamba omu ku baana eyasimattuka abasamize abaali bamusaddaaka era awo we yaweeredde ebirowoozo bye ku kirina okukolebwa okumalawo omuze guno.

Yagambye nti kimwewuunyisa okulaba nga buli muntu eyeeyita omusamize azimba buzimbi ssabo n’atandika okukolera omwo ebyambyone, nga tewali bamulondoola era olumu emisango ne bwe gitwalibwa mu kkooti, obujulizi bukaluba kubanga bakolera mu nzikiza ate olulala ne babaggulako emisango gy’okutuusa obulabe ku baana ate nga bandibadde bavunaanibwa kugezaako kutta muntu kubanga ebigendererwa mu kusaddaaka kubeera kutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi