TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Bamulamu bavuddeko amaka mangi okusasika ensangi zino’

‘Bamulamu bavuddeko amaka mangi okusasika ensangi zino’

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Viika wa Kampala owookubiri era alyowa emwoyo gy’abayizi ba ‘Makerere University, Business School (MUBS),’ Msgr. Dr. Lawrence Ssemussu asabye bamulamu okuva ku maka ga bannyinaabwe kubanga be bamu ku baleetedde amaka mangi okusasika mu Uganda.

Wata 703x422

Msgr. Ssemusu ng’awa omukisa abamu ku bagole be yagasse.

“Amaka mangi ensangi zino gasasise naye ng’agamu ku go kanaaluzaala ava ku bannyina b’abaami abasalawo okuwa ebiragiro n’amateeka mu maka ga bannyinaabwe,” Msgr. Ssemusu bwe yategeezezza ng’ayigiriza mu kitambiro kya Mmisa kye yakulembedde ku kigo ky’Omutuukirivu Mbaaga -Tuzinde e Kiwaatule.

Baabadde bakuza olunaku lw’ekifo kyabwe ate n’olwabafumbo era mwe yagattidde emigogo gy’abagole musanvu ku Lwomukaaga.

Yawabudde bamulamu okutwala bakyala ba bannyinaabwe ng’ekikulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...