TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muka Bobi Wine amuwandiikidde ebbaluwa y'omukwano

Muka Bobi Wine amuwandiikidde ebbaluwa y'omukwano

By Stuart Yiga

Added 27th August 2018

MUKAZI w’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ amuwandiikidde ebbaluwa y’omukwano ng’amukulisa e kkomera.

Barbiengawayaamunebobingabaakamutaokuvamukkootiegulu 703x422

Barbie ng'awayaamu ne Bobi nga baakamuyimbula mu kkomera e Gulu

Mu bbaluwa ye, Barbie Itungo Kyagulanyi agamba nti, “Bobi mukwano, leero lwegiweze emyaka musanvu bukyanga tugattibwa mu bufumbo obutukuvu naye ekibi  nti olunaku lutusanze mu kkooti e Gulu, ng’oli ku miggo, tulinda okusalawo kw’omulamuzi okweyimirirwa ogende ofune obujjanjabi olw’obulumi bw’oyitamu.

Mubiseera biri ssinga tuli ku biici mitala wa mayanja nga tulya bulamu wamu n’abaana baffe.

Kibi nti olunaku lwaffe lutusanze tuli wano nga tetumanyi oba bayinza okuddamu okukukwata ne bakuzza mu kkomera oba nedda…,”Barbie bw’agamba.

Ayongerako nti, “Nakino kankikugambe, nkyenyumirizaamu nti oli mu maaso g’Omulamuzi si lwakuba nti oli muzzi wa musango, nti oba wasse omuntu oba okulya ssente z’omuwi w’omusolo, wabula lwakuba ekyo ky’okkiririzaamu.

Nzujukira ozze okingamba lunye nti, ekirooto kyo kyakulaba nga obeera mu ggwanga erifa ku bwetaavu bwa buli muntu era ng’ozze okikolerera kituukirire era nga kati byonna by’oyitamu kwebiva.

Nziramu okukakasa nti, nja kubeerawo ku buli mutendera gwonna si lwakuba nti ndi mukaziwo, wabula lwakuba oli mukwano gwange asingayo.

Ku lunaku lw’embaga yaffe eyaliwo nga 27,08,2018, wanyimbira akayimba akalungi akagamba nti mu bulungi ne mu bubi,  kyokka mbadde sikawulirizanga.

Wansuubiza okubeera nange mu bulamu ne mubulwadde, mu bugagga n’obwavu, mu    nnaku n’essanyu era nange nekusuubiza bwenyo.  Kati tuli kuludda lwa kunyiike nga bwe twakuba ebirayiro byaffe.

Nkwagaliza olunaku olulungi mukwano,” Barbie bwe  yayayongeddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta