TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emmwaanyi nazitadde mu yinsuwa okwerinda ebigwabitalaze

Emmwaanyi nazitadde mu yinsuwa okwerinda ebigwabitalaze

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Emmwaanyi nazitadde mu yinsuwa okwerinda ebigwabitalaze

Jup2 703x422

Ssempijja mu musiri gw’emmwaanyi

OKULIMA n’okulunda birina kutambulira wamu omulimi okusobola okufunamu, kubanga buli kumu kiyamba kinnaakyo okubeerawo. Samuel Ssempijja omutuuze w’e Bukinda, mu ggombolola y’e Buwunga mu disitulikiti y’e Masaka alina yiika nnya kw’alimira emmwaanyi nga kuno agattako okulunda ente mw’afuna ebigimusa n’amasannyalaze aga ‘Bio-gas’.

Annyonnyola bw’afuna mu faamu ye:

OKUTANDIKA Okuva edda nalimanga naye nga sirina magezi ga kikugu mu mulimu guno, era ng’emmere nfuna ya kulya kwokka. Okulima okuleeta ssente nakutandika mu 2004, oluvannyuma lw’ekitongole kya Caritas - Maddo okujja ne kitandika okutusomesa ennima ey’omulembe.

Emmwaanyi ze nasooka okulima n’ente ze nasooka okulunda naziggya mu kibiina kino era okuva nagaziwa mpola okutuuka wano we ntuuse. Bwe mbeera nsimba emmwaanyi, nzikuba amabanga ga ffuuti 10 okuva ku kikolo okutuuka ku kirala.

OBUYIIYA Mu nnimiro nasimamu ensalosalo buli luvannyuma lwa mmita 30 ezinnyamba okukugira amazzi obutakuluggusa ttaka n’okugakwata ne gasigala mu nnimiro. Ensalosalo ezikwata amazzi obutakuluggusa ttaka nzisima ettaka nditeeka ku ludda amazzi gye gava, ate ezikuuma amazzi nzisima ettaka nditeeka amazzi gye galaga okugasobozesa okuyiika

 

OKULIMA EMMWAANYI NGATTAKO OKULUNDA ENTE NE NFUNAMU

Ssempijja mu musiri gw’emmwaanyi mu lusalosalo ennimiro n’esobola okugakozesa. Ku nsalosalo nagenda nsimbako omuddo oguliibwa ente nga tekinneetaagisa kwonoona ttaka ddala nti nsimbako muddo. Omuddo guno era guyamba mu kukwata amazzi obutakuluggusa ttaka.

Mu nnimiro nninamu emiti emiwanvu okugeza emituba, eginnyamba okuleeta ebisiikirize mu nnimiro ebikuuma obunnyogovu mu ttaka ne bwetuba tuli mu sizoni ya musana.Emmwaanyi nzisalira nga nziggyako obuwakatirwa bwonna ekiziyiza obuwuka okuzaalira mu nnimiro yange.

Kino kinnyambye nnyo okwewala endwadde ezireetebwa obuwuka. Mu nnimiro nteekamu ebigimusa ebinnyamba okukuuma obugimu mu ttaka. Nsinga kukozesa obusa obuva mu nte kubanga buwangaalira mu ttaka ate nga sibugula.

Obusa obumaze okukola ‘Bio-gas’ (Bio sirary) nga buno bubeera bwa mazzi mbukozesa ku mmwaanyi ento ne kasooli. Ate obusa obukalu (Sirary composite) nabwo mbuteeka ku mmwaanyi naddala enkulu.

Mpima ffuuti bbiri okuva ku kikolo ne njiwawo obusa nga nkyetoolooza oluvannyuma ne ndeeta enkumbi ey’amannyo ne mbutemaatemamu ekibuyamba okuyingira mu ttaka. Omuddo ogubeera mu nnimiro ngufuuyira gukyali muto nga tegunnasuula nsigo. Kino kinnyamba kubanga gulwawo okuddamu okumera ennimiro n’ebeera ng’etambula bulungi.

Mu mmwaanyi nnimiramu ebimera ebirala nga muwogo ne kasooli nga tekinneetaagisa kubaako ttaka lye nyonoona nti nnimirawo mmere ya kulya. OKUKOLA SSENTE Ssente nziggya mu mata ge ntunda. Ente naddala nga yaakazaala ngifunamu liita 20 buli lunaku.

Buli liita ya 1,000/- ate nga ku ssaawa eno nnina ente bbiri ze nkama. Ssente endala nziggya mu mmwaanyi nga buli kkiro ya kase egula 5,300/- okusinziira ku katale akaliwo kati. Nnina ebikolo 2,060 nga buli kikolo nkifunako kkiro ttaano. Emiti gy’emmwaanyi emitereevu obulungi nga gikuze ngitema ne ngiwoola bulungi ne ngitunda mu batunda ebizimbisibwa nga gikola ng’emiyini gy’enkumbi. Buli muti ngutunda 800/-.

Buli sizoni ntemamu emiyini wakati w’e 400 ne 500 ate buli mwaka ntemamu emirundi ebiri. Abantu abajja okusoma nabo baleeta ssente nga buli kibiina ekibeera kizze kisasula 70,000/-.

OKUGATTAKO OMUTINDO Emmwaanyi situnda mbisi, bwe nzinoga nzaanika ku matundubaali, bwe zimala okukala nga nzitwala ku kyuma nga bazikuba awo nga ntunda mpeke oba kase.

AKATALE Amata ngatunda mu kitongole kya Caritas - Maddo e Kitovu era wano tegadibirawo.

OKUYAMBA ABALALA 1 Faamu eno eyambye abantu naddala abajja okusoma ne bafuna amagezi nabo ne bagenda ne babiteeka mu nkola, ekibayambye okusitula embeera zaabwe.

2 Faamu ekozesa abakozi bangi naddala mu biseera eby’amakungula era bano bafuna ssente ezibayamba mu bulamu obwabulijjo.

3 Abantu b’oku kyalo kino bo bajja ne bafuna amagezi ku bwereere era sibasasuza. OKUBEERAWO KWA FAAMU Abaana bange bonna ne nnyaabwe bamanyi bulungi emirimu gino kubanga nabatendeka bulungi ne bwemba siriiwo basobola bulungi okuddukanya emirimu kubanga ne ku byuma gye tuzikubira bamanyiiyo. TEKINOLOGIYA Nakola ‘Bio-gas’ omuva amasannyalaze ge nkozesa awaka okufumbirako n’okwakisa amataala.

Okugafuna ntabula obusa bw’ente n’omusulo gwazo ate obusa obumaze okukola amasannyalaze ne mbuteeka mu nnimiro ng’ekigimusa. Nnina akuuma akakozesa amafuta, akannyamba okusala ebisagazi n’omuddo gw’ente nga kano kanguya omulimu ate nga kasala bulungi.

OKWERINDA AKATYABAGA Nnina emiti okwetooloola ennimiro yonna eginnyamba okukwata embuyaga n’eteyonoona birime byange.

Nnina embwa n’omukuumi w’akasaale nga kinnyamba okwewala ababbi n’abantu ababi abayinza okusaalimbira mu nnimiro ekiro nga nneebase. Abantu b’oku kyalo nkolagana nabo bulungi nga nabo babeera bulindaala okulaba nga tewali buzibu butuuka ku faamu eno. Nagenze mu yinsuwa ne nteekayo omusiri gw’emmwaanyi ng’ekyeya bwe kiba kinkosezza basobola okundiyirira ne sifiirwa.

EBIRUUBIRIRWA hhenda kugula ekyuma ekikola yogati nsobole okufunamu ekisinga mu mata nga nyongeddeko omutindo. Njagala okwongerako ku bungi bw’ente waakiri mbeere n’ente nga ttaano ezivaamu amata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...