TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enteekateeka za Bebe Cool ez'okutwala abaana abalwadde b'emitima e Buyindi ziwedde; Abataddemu obukadde 60!

Enteekateeka za Bebe Cool ez'okutwala abaana abalwadde b'emitima e Buyindi ziwedde; Abataddemu obukadde 60!

By Joseph Mutebi

Added 27th August 2018

Enteekateeka za Bebe Cool ez'okutwala abaana abalwadde b'emitima e Buyindi ziwedde; Abataddemu obukadde 60!

Lep1 703x422

Bebe Cool ng'ali n'abaana btwala e Buyindi okujjanjabibwa

OMUYIMBI Bebe Cool amanyiddwa nga Big Size amalirizza enteekateeka ze ez'okutwala abaana abawerera ddala 5 e Buyindi okujjanjabwa obulwadde bw'omutima.

Bebe Cool yategeka ekivvulu kyeyatuuma Golden Heart Concert n'ekigendererwa ky'okuyamba abaana abatawaanyizibwa obulwadde bw'omutima ekyali e Kololo nga kyetabwamu n'omukulembeze w'eggwanga.

Mu lukung'aana lw'abannamawulire lwatuuzizza enkya ya leero ku Torino Bar, Bebe Cool ayanjulidde bannamawulire enteekateeka z'okutwala abaana abawerera ddala bataano nga bweziwedde era n'ategeeza nti buli kimu kiwedde abaana bagenda kusitula okugenda e Buyindi ku ssande eno nga bakozesa ennyonyi ya Emirates Airline.

Big Size agambye nti buli kimu ky'awedde abaana baamala okubeekebejja bulungi, okubakolera buli kimu omuli okubafunira Pass port, air ticket ssaako ne bamaama baabwe bonna. 

Bebe Cool agenze mu maaso  n'ategeezeza nti enteekateeka eno yonna awamu agenda kugisaasaanyizaako obukadde 60 ng'aziggya kw'ezo zeyaggya mu kivvulu kya Golden Heart  ezisoba mu bukadde ebitaano.

N'ebaza bannayugnda bonna abajja ne bampagira mu kivvulu kyange era ntwala omukisa guno okubategeeza nti ekivvulu kino kyonna awamu ky'atumalako obukadde 300,000,000 nga tukitegeka,wabula nga twakiggyamu obukadde 550,000,000 nga ku zino kwentodde obukadde 60 ziyambe mu nteekateeka y'okutwala abaana bano e Buyindi okujjanjabibwa"Bwatyo Bebe Cool bwategeezezza.

Mungeri yeemu Bebe Cool ategeezezza nga bw'agguddewo ekibiina eky'okuyambanga ku bantu abatawaanyizibwa endwadde ez'enjawulo ky'atuumye Amber Heart Foundation.

Olw'okwagala okuyamba ku bantu ssaako n'okubaako ettoffali ly'enteeka ku ggwanga lyange nsazeewo ntandikewo ekibiina kino kyentuumye Amber Foundation era wadde nga nkituumye Amber Heart foundation tekitegeeza nti ky'akuyamba balwadde ba mitima bokka wabula tujjanga kukola ku bantu abatawanyizibwa endwadde ez'enjawulo nga bwetunaaba tusobodde"Bwatyo Bebe Cool bwategeezezza.

Big Size amalirizza ng'asaba Gavumenti nti singa abaana bono banaakomawo nga bakoleddwako bulungi ayagala Pulezidenti Museveni agende abakyalireko alabe embeera mwebali n'oluvannyuma abaeeko ettoffaali ly'assaawo okusobola okutwala enkola eno mu maaso.

Abaana abagenda okujjanjabibwa kuliko, Emmy Ogwang 2 okuva e Lira, Jovan Maseruka 13, ava Luweero, Shirati Namuyomba 11, okuva Mukono Nabuti , Anthony Mukyondwa 8, okuva Gayaza ne Rashid Bbosa ow’e Najeera era ng'omwana ng'obujjanjabi obusooka bw'akubaawo ku lwokubiri.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sib1 220x290

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera;...

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Cam1 220x290

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa...

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

Cranesweb 220x290

Magogo atwala Cranes mu World Cup...

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, aweze nga bw'agenda okukola ekyafaayo ng'atwala Cranes mu World Cup omulundi...

Lwe 220x290

Abadde alondoola abatta mwannyina...

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

Eriksen 220x290

PSG eyingidde olwokaano lw'okugula...

Real Madrid ye yasoose okwesowolayo okugula Eriksen wabula kati ne PSG eyingidde olwokaano.