TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddwaaliro ly'e Lubaga linywezezza eby'okwerinda by'omubaka Zaake

Eddwaaliro ly'e Lubaga linywezezza eby'okwerinda by'omubaka Zaake

By Lawrence Kitatta

Added 28th August 2018

EDDWAALIRO ly’e Lubaga lyongedde okunyweza ebyokwerinda ku waadi omujjanjabirwa omubaka wa munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake Butebi.

Papa 703x422

Mu kiseera kino abantu abakkirizibwa okulaba Zaake batono ddala era nga n’abaaniriza abagenyi ku ddwaaliro baakyusiddwa. Bw’otuuka ku ddwaaliro abasiddwaawo kasita obabuulira nti ozze kulaba ku mubaka Zaake basooka kukubuuza bibuuzo bya njawulo okukakasa nti tolina bulabe yadde ekigendererwa ekibi, okuggyako babaka banne aba palamenti.

Kino kiddiridde akabinja k’abasajja abataategeerekese okulumba eddwaaliro mu kiro ekyakeeseza Olwomukaaga ne bagezaako okukaka Zaake nga bamuggya ku kitanda bagende naye.

Daniel Mugambwa omu ku booluganda lwa Zaake abamuli ku lusengere yagambye nti ku Lwomukaaga essaawa nga 4:00 ez’ekiro akabinja k’abasajja bataano baayingidde eddwaaliro n’abaaniriza era ne bamutegeeza nga bwe baagala okulaba ku mbeera y’omubaka n’okumubuzaako.

Agamba nti yabadde afulumye mu woodi ng’alina by’agenze okunoonyeza omulwadde wabula mu kukomawo yasanze abasajja be bagajja Zaake okumuggya ku katanda kwe yabadde bamutwale. Agamba nti yayanguye okuyita abaserikale abakuuma eddwaaliro wabula nga bali wala era we baatuukidde ng’abasajja bafubutuse.

Ekikolwa ky’abasajja bano okwagala okusitula omulwadde ku kitanda kyasajjudde ebimu ku bisago bye yafuna ku mugongo ne mu nsingo wamu n’ekifuba era ng’obulumi bwamweyongedde. Mugambwa yategeezezza Bukedde ku Ssande nti enjega eno eyabaddewo yabakanze n’abakulira eddwaaliro kwe kusalawo okwongera okunyweza ebyokwerinda.

Wabula omwogezi wa Poliisi, Emilian Kayima bwe yabuuziddwa ku nsonga eno, yategeezezza nti baabadde tebannafuna kwemulugunya kwonna kuva mu ba famire ya mubaka Zaake.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...