TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emmaali ya Dr. Kiyingi erugenze: Basenze ettaka lye e Busukuma - Wakiso

Emmaali ya Dr. Kiyingi erugenze: Basenze ettaka lye e Busukuma - Wakiso

By samuel tebuseeke

Added 28th August 2018

EBYOBUGAGGA bya Dr. Aggrey Kiyingi, avunaanibwa omusango gw’okulya mu nsi olukwe bitandise okulugenda.

Wata 703x422

Ennyumba y’oku kiggya eri ku ttaka eryasendeddwa. Mu katono Kagulire, muganda wa Dr. Kiyingi ku ddyo

Aba famire ye beekanze ettaka lye erisangibwa e Seeta - Namulonge mu ggombolola y’e Busukuma mu Wakiso nga balisenze nga n’obutunda obubaddeko bwonna busendeddwa! Ettaka lino liwezaako yiika 70 nga kuliko n’ekiggya, kya bakadde baabwe.

Samuel Kagulire omwogezi w’ekitongole kya Bulungibwansi ku ssaza Kyaddondo nga ye muto wa Dr. Kiyingi yategeezezza nti tebamanyi baasenze mmaali yaabwe.

Yagambye nti Kiyingi ye yasikira kitaabwe era ettaka lyabwe ery’ekiggya n’alissa mu mannya ge n’aligatta ku ttaka eddala lye yagula ku kyalo kino ng’awamu ziri yiika 70.

Kagulire yategeezezza nti ekyamwewuunyisizza kwe kusanga ttulakita ng’esenze ennimiro ye ey’obutunda gy’abadde yasimba ku ttaka lino yiika ttaano era bubadde butandise okubala.

Yagambye nti tebaafuna kulabulwa kwonna nti waliwo eyagula wabula abantu bazze buzzi ne basenda nga bawoza nti baagulawo. Ayongerako nti guno si gwe mulundi ogusoose okubasendera ebintu.

Omulundi ogwasooka baasenda ennimiro y’ensujju nga December 13, 2017 ensonga n’azitwala mu kkooti naye kyamwewuunyisizza nti abadde tannasasulwa, ate ne bakomawo ne basenda ebintu ebirala.

Kagulire yategeezezza nti obutunda buno abadde yaakabussaamu ssente eziwera obukadde 30.

Musa Bire, mutabani wa Kagulire eyabaddewo nga basenda yategeezezza nti abaasenze baatandise ku ssaawa nga 3:00 ku Lwomukaaga ku makya era bazze n’abaserikale nga bagamba nti balina ekiragiro kya kkooti ekibakkiriza okusenda.

Kagulire yagenze ku poliisi y’e Kasangati n’aloopa omusango gw’okumwonoonera ebintu bye ku SDREF26/25/08/2018.

Robert Kachumu atwala poliisi y’e Kasangati yamutegeezezza nti poliisi erina ekiwandiiko kya kkooti ekiragira ettaka eryogerwako okusendebwa.

Kiyingi musawo wa mitima. Mu ggwanga yaddukamu olw’emisango egyamuggulwako nga kati abeera mu Australia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...