TOP

Abasawo balaze ebiruma Bobi Wine

By Martin Ndijjo

Added 28th August 2018

Embeera y’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) tennaba kutereera. abasawo balaze ebimuluma ne baagaana n'abantu okumulambula afune obudde obumala okuwuumula n'okufuna obujjanjabi.

Bo 703x422

Bobi Wine nga yeebase

EMBEERA y’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi  Ssentamu (Bobi Wine) tennaba kutereera.

 

Oluvannyuma lwa Bobi Wine okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti y’e Gulu ku Mmande ne banne abalala 23, yatwaliddwa butereevu mu ddwaaliro e Lubaga gye yaweereddwa ekitanda.

 

Omubaka Asuman Basalirwa omu ku bannamateeka ba Bobi Wine ategeezezza nti amangu ddala nga Bobi Wine atuusiddwa mu ddwaaliro, abasawo batandikiddewo okumwekwebejja era ebimu kw’ebyo ebizuuliddwamulimu mulimu;

  • Okufuna obuvune mu mugongo
  • Ensingo okukosebwa era nti  y’ensonga lwaki tasobola kuyimira na kutambula nga tawaniriddwa.
  • Olw’obulumi obungi, Bobi Wine era tasobola kwogera bulungi.
  • Abasawo era baasazeewo okwekebejja ekibumba okulaba engeri gye kikolamu.
 suman asalirwa ku ddwaaliro e ubaga Asuman Basalirwa ku ddwaaliro e Lubaga

 

Basalirwa agamba nti abasawo bwe banaamaliriza okumwekebejja  n’okuzuula obuzibu bwonna bw’alina okusinizira ku binaaba bizuuliddwa, bajja kusalawo wa we bamutwala n’ensi.

 

Abasawo baagaanye abantu okumulambula.

 

Abasawo abajjanjaba Bobi basabye abantu abantu obutamukyalira asobole okufuna obudde obumala okuwummula n’okufuna obujjanjabi.

 

Leero abantu omuli abeng’anda n’emikwano gya Bobi Wine baakedde kugenda  ku ddwaaliro okumulabako n’okumukulisa ekkomera kyokka bangi basanze akaseera akazibu ng’abeebyokwerinda ku ddwaaliro babaagaana okutuuka ku kasenge mwajjanjabirwa.

 

Obwedda kikwetaagisa okwennyonnyolako ennyo kyokka ng’abeebyokwerinda basoose kwebuuza ku ba famire ya Bobi abamujjanjaba oba bakukkiriza nga wano abamu tebabakkiriza kumulaba.

 

Ng’ayogerako eri bannamawulire, Basalirwa yagambye nti abasawo babasabye okukoma ku bantu abangi abeeyiwa mu ddwaaliro Bobi asobole okufuna obudde obumala okuwummula n’okumuwa obujjanjabi.

 

Agamba nti abasawo bawadde ebbanga lya wiiki emu ng’awummudde awatali kutaataganyizibwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Kenya okutukuba tejja kutulemesa...

ABAWAGIZI ba Rugby aba ttiimu ya Uganda baasoose kukuba nduula za luleekereeke nga balowooza nti ttiimu yaabwe...

Mazike 220x290

Fresh Daddy abawala batandise okumwerippa...

OBWASSEREEBU tebuva wala naye ne Fresh Daddy manya taata wa Fresh Kid bwe yayimbye ‘Mazike’ kati takyava mu bbaala...

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...