TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni annyonnyodde lwaki Bobi Wine ne Zaake baakubwa

Pulezidenti Museveni annyonnyodde lwaki Bobi Wine ne Zaake baakubwa

By Ahmed Mukiibi

Added 29th August 2018

Pulezidenti Museveni annyonnyodde lwaki Bobi Wine ne Zaake baakubwa

Lip2 703x422

Barbie mu ambyulensi eyaleese Bobi Wine e Lubaga.

PULEZIDENTI asisinkanye ababaka ba NRM mu palamenti n’agamba nti ababaka Bobi Wine ne Francis Zaake baakubwa lwa kulwana n’abebyokwerinda abaabakwata mu Arua. Museveni yagambye nti Zaake ye yasinga okulwana era yagezaako okukuba abaserikale kyokka ne bamukkakkanya.

Ate Bobi Wine yasooka kwekweka olwo abaserikale ne bamala kumpi ekiro kyonna nga bamunoonya okutuusa lwe baamukwata nga yeekukumye mu siiringi kyokka naye ne yeereega ku baserikale nabo ne bamukuba okutuusa lwebaamugonza. Ababaka yabasisinkanye mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Mmande ekiro. N’agamba nti yayita abaserikale abaali mu Arua ne bamunnyonnyola ebyaliwo.

Museveni yagambye nti wadde emmotoka ye emu yakubwa amayinja, kyokka abaserikale baasobola okukuuma obukkakkamu ne basooka bamutuusa ku nnyonyi ne yeeyongerayo. Ku bya ddereeva wa Bobi Wine ayitibwa Yasin Kawuma eyattibwa essasi, yagambye nti essasi lyamukubwa mu butanwa, kyokka ensonga eno akyaginoonyerezaako.

BOBI WINE YEEKWEKA MU SIIRINGI

Museveni yagambye nti abaserikale baakwata abantu bangi, kyokka Bobi Wine yasooka kubabula okutuusa lwe baamusanga nga yeekwese mu siiringi.

Ate ye Zaake yagaana okumukwata mu ddembe n’alwanyisa abaserikale. Embeera eno yawaliriza abaserikale okukozesa amaanyi agasingako okutuusa lwe baamugonza. Zaake bwe baamuteeka mu mmotoka ya poliisi, yasigala alwana era kino nakyo kyamuleetera okufuna obuvune kuba yali alaga nti tannakkiriza nti yali akwatiddwa. Eno y’embeera eyamuleetera okukosebwa.

MUSEVENI AWAKANYA AKAKIIKO KA PALAMENTI AKABUULIRIZA

Pulezidenti yagambye nti kyali tekyetaagisa palamenti kussaawo kakiiko okulondoola ensonga z’ababaka abaakubwa. N’agamba nti tekyetaagisa palamenti kussaawo kakiiko kumpi ku buli nsonga eba eguddewo.

Ekirala okubuuliriza kwayo kujungululwa ababaka nga Medard Seggona eyasindikibwa okuzuula ekituufu ate yafundikira afuuse munnamateeka w’abasibe, ekintu ekitaali kituufu. N’alabula ababaka obuteetwala ng’abeekitalo.

Eggwanga liyinza okutambula nga tebaliiwo kubanga ebiseera ebisinga babibamala mu bintu ebitali bikulu. Yasuubizza okwongera abavubuka ssente okwekulaakulanya. Kyokka yavumiridde akakiiko k’ebyokulonda olw’engeri gye kakolamu emirimu n’asuubiza okugogola akakiiko ako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...

013 220x290

Okuwandiika aba LDU kutandika Lwakubiri...

OKUWANDIIKA abaserikale ba LDU mu Kampala n’emirirwano abagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga ...

Davidkyagambiddwamatovungayogerakumukolo 220x290

Bannakyaggwe mweyongere okuzaala...

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi...

Kccawinssupercup 220x290

KCCA emezza Vipers n'esitukira...

Mike Mutebi yagambye nti sizoni eno alina essuubi ly'okukumba ebikopo byonna.

Seminti5 220x290

Mmotoka ya seminti endala etomedde...

LOOLE ya seminti endala eyingiridde ey'omusenyu ku luguudo lw'e Masaka ddereeva waayo n'afiiriwo ate abalala 5...