TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamateeka ba Kayihura boogedde ku bya Kaweesi

Bannamateeka ba Kayihura boogedde ku bya Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2018

Bannamateeka ba Kayihura boogedde ku bya Kaweesi

Jub2 703x422

Abamu ku bannamateeka ba Kayihura mu kkooti.

BANNAMATEEKA ba Gen. Kale Kayihura, bavuddeyo ne bagamba nti omuntu waabwe okuggulwako emisango, kiraga nti abaamusibisa baamulinako mpalana za buntu. Bannamateeka bano abaakulembeddwa Jet Mwebaze baategeezezza nti, wabaddewo ebijja byogerwa nti Kayihura agenda kuvunaanibwa emisango 19 omuli n’okutta Andrew Felix Kaweesi nti kyokka amazima gaavuddeyo.

Tumwebaze yategeezezza nti oluvuuvuumo bwe lwayitihhana nti omuntu waabwe bagenda kumuggulako omusango gw’okutta Kaweesi, baagenda mu kkomera okumubuuza ky’amanyi ku nsonga eno.

Bwe baatuukayo, Kayihura yasooka n’asiriikirira nga tavaamu kigambo okutuusa lwe yabaanukula. Yabagamba nti kyamwewuunyisa abantu okumuteekako eky’okutta Kaweesi omuntu gwe yalera n’amutendeka ng’amwesiga nnyo nti ne bwe yandibadde mutemu atya yali tayinza kutta Kaweesi kuba yali amulowoolezaamu nnyo olw’enkola ye ey’emirimu ennungi.

Kayihura yagattako nti yawulira ng’abantu bagamba nti yatta Kaweesi olw’okutya okumutwalako omulimu gwe n’agamba nti kino tekyali kituufu kuba Kaweesi mu kiseera we yattirwa, endagaano ye (Kayihura) emuwa omulimu yali yaakazzibwa obuggya nga ya myaka esatu.

Yagattako nti okuttibwa kwa Kaweesi yatuuka n’ekiseera n’alowooza nti Katonda oba yali akimuleetedde nga kibonerezo kubanga obuweereza bwa Kaweesi bwali bwa kika kya waggulu kubanga ye muntu gwe yatumanga omulimu n’agukolerawo ate ne gutuukirira.

Tumwebaze yageraageranyizza abantu abalwanyisa Kayihura ku bantu abaagenda okuyigga enjovu kyokka ne bakomawo nga bakwasizza kamyu kubanga emisango 19 gye baali baagala givunaanibwe Kayihura yavunaaniddwaako esatu gyokka.

Tumwebaze yasoomoozezza abo bonna abali emabega w’embeera Kayihura gy’ayitamu mu kiseera kino okubivaako kubanga ffirimu gye babadde bagezaako okuzannya egaanyi kati bakole birala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...

Blur 220x290

Ssaalongo ayankubya muggya wange...

MBONAABONEDDE mu nsi eno! Nze Sharon Busingye 31 ow’e Lusanja mu Namere Zooni. Nzaalibwa ku kyalo Luwerere mu disitulikiti...

Ssenga1 220x290

Lwaki malamu mangu akagoba?

Ndi musajja wa myaka 40. Nnina ekizibu eky’okumala amangu nga ndi n’omwagalwa wange.