TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omuserikale Ntibimana eyatta omuwagizi wa Bobi Wine e Gomba bamukutte

Omuserikale Ntibimana eyatta omuwagizi wa Bobi Wine e Gomba bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2018

POLIISI y’e Mpigi ekutte omusajja waayo agambibwa okukuba omuwagizi wa Bobi Wine amasasi e Gomba mu kwekalakaasa mwe baali balagira obutali bumativu bwabwe olwa poliisi okumuzza mu kaduukulu.

Nunu 703x422

Omugenzi Sserungaya nga bw’abadde afaanana.

Ntibimana, omuserikale anoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kanoni yakwatiddwa poliisi y’e Katonga n’aggalirwa mu kaduukulu ka poliisi y’e Mpigi ku biragiro bya RPC nga kigambibwa nti ye yakuba Vincent Sserungaya essasi mu kifuba n’afiirawo.

Kigambibwa nti, Ntibimana okukuba Sserungaya essasi yamusanga mu nyumbaye ng’okwekalakaasa kuwedde era nti yamuggya mu buliri abatuuze kye bagamba nti poliisi yamuttira bwereere.

Wabula bino Poliisi ebisambajja ng’egamba nti, Sserungaya yali agezaako okutta omuserikale waabwe mu kwetaasa okumutema embazzi n’amukuba essasi mu butanwa ne limutta.

Mu kiseera kino Ntibimana akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi y’e Mpigi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”