TOP
  • Home
  • Buganda
  • ‘Bassentebe mwenyigire mu bulunzi n’obulimi mu kifo ky’okulwanira sitampu’

‘Bassentebe mwenyigire mu bulunzi n’obulimi mu kifo ky’okulwanira sitampu’

By Paddy Bukenya

Added 29th August 2018

“Okulondebwa ku bwa ssentebe bw’ekyalo buweereza na buvunaanyizibwa temulina kukitwala nga kyangu era mulina okutandikawo eby’okukola bye muggyamu ssente ezibayimirizaawo okusinga okulowooleza mu sitampu.”

Ssempijjangaayogeranebassentebebebyalobyempigi 703x422

Ssempijja ng'ayogera ne bassentebe b'ebyalo e Mpigi

MINISITA w’ebyobulimi atabukidde bassentebe b’ebyalo by’e Mpigi abalwanira sitampu n’abawa amagezi okwenyigira mu bulimi bwe baba baagala okwekulaakulanya.

Minisita w’ebyobulimi, obuvubi n’obulunzi, Vincent Ssempijja agugumbudde bassentebe b’ebyalo by’amagombolola agakola Mpigi olw’okulwanira sitampu nga balowooza nti ze zigenda okubakulaakulanya n’abawa amagezi okwenyigira mu bulimi n’obulunzi.

Ssempijja bino yabyogeredde mu lukun’gaana lwa bassentebe b’ebyalo bya disitulikiti y’e Mpigi olw’okubabangula mu bulimi n’obulunzi eby’omulembe olubadde ku ttendekero lya ‘Kampiringisa National Leadership Centre’ n’abalabula okukomya okulwanira sitampu z’ekyalo n’abasa obudde bwabwe obusinga okubumalira mu kulima beekulakulanye.

“Okulondebwa ku bwa ssentebe bw’ekyalo buweereza na buvunaanyizibwa temulina kukitwala nga kyangu era mulina okutandikawo eby’okukola bye muggyamu ssente ezibayimirizaawo okusinga okulowooleza mu sitampu,” Ssempijja bwe yategeezezza.

Bassentebe bano baasiimye Gavumenti ya NRM olw’enteekateeka ya bonnabagaggawale gye yabateerawo kyokka ne basaba minisita babayambe ku mutindo gw’endokwa ze babawa ne zigaana okubala gattako okubawa ebintu bye batalinaako bwetaavu ng’ate bye bagala weebiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu