TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baazizza amaka g'eyakuba muganzi we amasasi n'amutta

Baazizza amaka g'eyakuba muganzi we amasasi n'amutta

By Eria Luyimbazi

Added 29th August 2018

POLIISI ekomezzaawo omusajja Suleiman Musoke eyakuba muganzi we amasasi agaamuttirawo n’emutwala mu maka ge okugaaza okusobola okufuna obujulizi obumuluma mu musango gw’obutemu ogumuvunaanibwa.

Musoke1 703x422

Omuserikale ng’atwala Musoke mu kaduukulu ka poliisi e Katwe oluvannyuma lw’okwaza amaka ge. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

Kino kiddiridde Musoke eyakukunuddwa poliisi e Rakai gye yabadde yeekukumye okuva lwe yatta muganzi we, Agnes Birabwa nga July 28, 2017 ne bamukomyawo e Kampala okusobola okumunoonyerezaako naddala ku bikwata ku mmundu gye yakozesa mu kukola obutemu buno.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Musoke yatwaliddwa mu maka ge okusobola okuzuula ebikwata ku mmundu gye yakozesa okutta Birabwa okumanya oba yagirina mu mikono mituufu.

“Musoke abadde anoonyezebwa ku by’okutta muganzi we gwe yakuba amasasi omwaka oguwedde. Yakwatiddwa era n’akomezebwawo e Kampala gye yaddiza omusango era okusobola okunoonyereza twamututte mu makage okubaako ebintu bye tuggyayo, “ Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti Musoke baasoose kumutwala mu makaage e Kyengera ng’eno gye yasooka okuddukira ng’amaze okukuba Birabwa amasasi ne bazzaako amaka ge amalala e Kawempe ng’eno gye baazuulidde empapula ezikakasa nti emmundu yiye ng’okugifuna yamala kusaba aduumira poliisi y’e Kawempe ne bagimuwa.

Musoke bwe yabadde ku poliisi e Katwe yakkiriza nti omukazi ye yamukuba amasasi wabula nga kyaliwo mu butanwa kuba baali balwanira emmundu nga kyava ku Nabbona okumuleetera abavubuka bwe baali bagenze okutuula mu nsonga ezaali zibatabudde ezaava ku ssente.

Yagambye nti yakwasa Birabwa obuvunanyizibwa okukuhhaanya ssente ze yali abanja okusobola okusasula amabanja ge yalina kyokka bwe yakomawo okuva e Misiri gye yali agenze okuwummulako n’asanga nga ku akawunti tewali ssente ze yateekako.

Balabudde abakulembeze ku biriwo Yateegeezezza nti kino kyamuviirako okumusaba basisinkane ewa mulamu we, Zahara Nakanwagi e Makindye wabula olw’obusungu n’okumuleetera abavubuka bamukube, yaggyayo emmundu abakange bamuviire wabula Birabwa n’amugwira n’agezaako okumuggyako emmundu essasi ne limukuba ku mutwe mu butanwa.

Yagasseeko nti okuva lwe yazza omusango guno yasalawo okuddukira e Kammengo ekisangibwa e Rakai embeera ekkakkane oluvannyuma aveeyo addemu okukola wabula abaserikale gye baamukwatidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...