TOP
  • Home
  • Buganda
  • Gavt ekangavvule abaserikale abatulugunya abantu mu lujjudde - Mmengo

Gavt ekangavvule abaserikale abatulugunya abantu mu lujjudde - Mmengo

By Dickson Kulumba

Added 29th August 2018

“Tulowooza nti enkaayana ezibeera mu by'obufuzi ezitasoose leero ate tezikomye kati nga zijja kubeerawo lubeerera, zisaana kukolebwako okuyita mu by'obufuzi so ssi kutulugunya bantu abali ku ludda oluvuganya Gavumenti."

Mmengokusiima8 703x422

Ab'eggombolola y'e Lwankoni nga bayanjula ebintu ebyenjawulo byebaleese embuga.

MMENGO yeegasse ku balwanirizi b'eddembe abalala n’esaba Gavumenti okuvaayo ekangavvule abaserikale baayo abakkakkana ku Bannayuganda ne babatulugunya ekisusse nga kino kirina kukolebwa mu lujjudde ng’ensi bwe yalaba ng’abantu batulugunyizibwa.

Bino byayogeddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Amb. Emmanuel Ssendaula ng’asisinkanye abantu okuva mu ggombolola ez’enjawulo mu Buddu ne Kyaddondo ku Lwokubiri ku Bulange - Mmengo nga baleese oluwalo lwabwe.

“Tusaba Gavumenti nti abakozi baayo abeenyigira mu kutulugunya Bobi Wine ne Zaake bakwatibwe bavunaanibwe mu mbuga z'amateeka. Twagala tukirabe nga bwe twalabye abantu nga bakubibwa. Tujja kusanyuka nga tekikoleddwa mu nkukutu wabula kisaasaane buli omu akirabe,” Amb. Ssendaula bwe yasabye.

Amb. Ssendaula era yeebazizza Omukubiriza wa Palamenti, Rebecca Kadaga olw’okuvaayo nga teyemotyamotya n’awandiikira Pulezidenti Museveni ebbaluwa ng’amusaba ategeeze eggwanga abaserikale abaatulugunya ababaka ba Palamenti ssaako ne Bannayuganda okutwalira awamu era n’asaba n’okuwabula okwakoleddwa Minisita owa guno naguli, Hajji Abdul Nadduli mwe yasabidde ebikolwa by’effujjo ebikolebwa abakuumaddembe bikendeere, kutwalibwe ng’ekikulu.

“Tulowooza nti enkaayana ezibeera mu by'obufuzi ezitasoose leero ate tezikomye kati nga  zijja kubeerawo lubeerera, zisaana kukolebwako okuyita mu by'obufuzi so ssi kutulugunya bantu abali ku ludda oluvuganya Gavumenti,” Ssendaula bwe yagenze mu maaso n’okuwabula.

Ye Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki ajjukiza abaami b’amagombolola bonna okukola enteekateeka y’okuteekawo Pulojekiti okunajjukirirwa Jubireewo era ne yeebaza n’abantu olw’okujjanga entakera e Mmengo okuleeta oluwalo.

Bannabuddu baakulembeddwaamu Pokino Vicent Mayiga ng’ono yasabye enteekateeka y’okusala empaka z’abalimi abasinze okwerwanako kibasoboze okweteekateeka obulungi ng’olunaku lwa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda lunaatera okutuuka. Ate ab’e Nabweru baakulembeddwaamu Omumyuka owookubiri owa Kaggo, Agnes Nakibirige Sempa n’oweggombolola Kabenge.

 Mutuba III Mukungwe baaleese 5,665,000/- nga ku zino Omulamuzi eyawummula Musoke Kibuuka yawaddeyo 300,000/-, Masaka Diocese 250,000/- , West Buganda Diocese 1OO,OOO/-,Omutaka Kaliika 300,000/-, Omubaka Florence  Namayanja 200,000/-. Eggombolola endala zaakoze bwe ziti;- Mutuba II Nabweru 2,925,000/-,Kaliisizo 1,745,500/-, Lwankoni 1,460,000/-, Kasaali 1,100,000/-, Mutuba XV Kirumba;- 1,080,500/-, Mutuba VI Kyebe;- 740,000/- ate abayizi ba Hoima Nursing School 100,000/-. nga zonna wamu zaasusse mu bukadde 14.

Abaami b’eggombolola okuli Mukungwe ne Kaliisizo basabye Mmengo ebagambire ku gavumenti eya wakati obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ebibira ebitonotono budde mu mikono gy’Obwakabaka kubanga bingi bisaanawo nga tefaayo ate Remegio Kabugo ow’e Kaliisizo n’agamba nti 500/-Gavumenti z’eyagala okugula kkiro ya kasooli ntono nnyo nga tezirina kye zigenda kukyusa ku byanfuna y’abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...