TOP
  • Home
  • Buganda
  • Bamugobye ku kyalo lwa kuteega baggya be n'abayiwa kaamulali mu mbugo

Bamugobye ku kyalo lwa kuteega baggya be n'abayiwa kaamulali mu mbugo

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2018

Moureen Namuyomba ng’ono y’omu ku baggya be yalumirizza omukazi ono Babirye Naggujja okumuyiwa kaamulali mu bukyala oluvannyuma lw’okumuteega n’abaana be ne bamulwanyisa ne bamusinza amaanyi n’amugaziya amagulu n’addira ekikopo kya kaamulali n’akimuyiwa mu mbugo.

Busukuma8 703x422

Ssentebe Vincent Musaaka ng'akubiriza olukiiko. Mu katono ye Naggujja.

ABATUUZE ku kyalo Nkolempomye mu ggombolola y’e Busukuma bavudde mu mbeera ne bagoba mutuuze munnaabwe ku kyalo ng’agambibwa okwegatta n’abaana be n’ateega baggya be n’abalwanyisa n’abayiwa kaamulali mu mbugo.

Moureen Namuyomba ng’ono y’omu ku baggya be yalumirizza omukazi ono Babirye Naggujja okumuyiwa kaamulali mu bukyala oluvannyuma lw’okumuteega n’abaana be ne bamulwanyisa ne bamusinza amaanyi n’amugaziya amagulu n’addira ekikopo kya kaamulali n’akimuyiwa mu mbugo nga wano abatuuze we baasinzidde okumugoba ku kyalo.

Vicent Musaaka ssentebe w’ekitundu asabye abatuuze okubeera abakkakkamu kuba Naggujja akitegedde nti agenda kuva ku kyalo abatuuze kye bakkirizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi