TOP
  • Home
  • Buganda
  • Nambooze bamutwalidde mu Ambyulensi ku kitebe kya ba mbega e Kibuli

Nambooze bamutwalidde mu Ambyulensi ku kitebe kya ba mbega e Kibuli

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2018

Nambooze asekeredde abalowooza nti amaanyi gamuwedde olw’okuba omulwadde nti basaaga ne mu mbeera gy’alimu akyasobola okubaako by’akola.

Ekigerekyomubakanamboozekyebalogoseza 703x422

Ekigere ky'omubaka Nambooze (mu kafaananyi akatono) kye baalongoosezza.

 

Embeera y’omubaka wa Mukono Munisipaali,  Betty Nambooze Bakireke eyongedde okusajjuka oluvannyuma lw’ekigere okweyongera okutana ekyavuddeko abasawo okukirongoosa.

Nambooze gwe twasanze mu maka ge ku kyalo Kavule mu kibuga Mukono yatutegeezezza nti obulumi mu kiseera kino bumuyitiriddeko ate nga n’ekigere kyongera kusajjuka.

Okusiibula mu maka ge ku ssaawa nga 4:30  ez’oku makya g’Olwokusatu okugenda e Kibuli, Nambooze  baamutuuzizza mu kagaali k’abalema era ng’abadde atambulira mu ambyulensi ye  okugenda okweyanjula ku kitebe kya bambega e Kibuli ku misango egyamuggulwako oluvannyuma lw’okufa kw’omubaka wa Arua Munisipaali, Ibrahim Abiriga.

Omubaka bwabadde tannasiibula okuva awaka, muwala we asembayo Jane Francis Mulungi yasoose kumusabira okutambula obulungi.

Nambooze yategeezezza nga bwe yabadde asabye balooya be okugendayo bannyonnyole embeera ye  wabula n’afuna okuwabulwa okuva eri puliida we bwatyo  n’asalawo okugendayo mu buntu asobole okusaba bekikwatako okumuwa ebbanga eriwerako olw’embeera y’obulamu bwe.

Ono yasabye Bannamukono okusigala nga balemeddeko yadde ng’ebintu bingi ebibayigganya naddala mu kiseera kino ng’abakulembeze abalondebwa ku munisipaali babeefuulidde, n’ategeeza nga kino bwe kiri ku njuyi zombi waggulu ne wansi.

Nambooze asekeredde abalowooza nti amaanyi gamuwedde olw’okuba omulwadde nti basaaga ne mu mbeera gy’alimu akyasobola okubaako by’akola, era wano we yasabidde abasuubuzi abalagiddwa okwamuka ebifo we bakolera obutatuula butuuzi wabula beerwaneko.

Ku nsonga y’okusazaamu bondi ye, Nambooze yategeezezza nga bw’atatyangako kugenda mu kkomera naddala bw’abeera ng’alwanirira emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?