TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasawo abajjanjaba abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka baakusibwa - minisita

Abasawo abajjanjaba abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka baakusibwa - minisita

By Muwanga Kakooza

Added 30th August 2018

MINISITA w’eggwanga ow’ensonga z’abaana n'abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi, alabudde nti abasawo abajjanjaba abaana abawala abafuna embuto nga tebanetuuka bookedde okusibwa singa tebakomya muze gwa butaloopa nsonga zino ku poliisi abasajja abazibafunyisa ne bakwatibwa.

Nakiwala1 703x422

Nakiwala ng'ayogera

Kiyingi agamba nti ssi kibi basawo kuzaalisa oba kujanjaba bawala bato bafuna mbuto nga tebannaba kwetuuka kyokka balina okuteegeeza poliisi n’esobola okulondoola abasajja ababafunyisa embuto ne bakwatibwa.

Bino yabitegeezezza bannamawulire mu Kampala n’agamba nti omuwendo gw’abawala abafuna embuto munene ku gw’abasajja abatwalibwa mu kkooti olw’okuzibafunyisa n’agamba nti ky’ekiseera okubaako ekikolebwa ensi ereme kufafagana etyo.

Yategeezezza nti etteeka ligamba nti omuntu azza omusango gw’okuganza omwana omuto n’oyo amuyambako  n’ataloopa olw’ensonga yonna bombi baba bazzizza omusango.

‘’Kano akawayiro ke kayinza okuyitibwamu okukwata abasawo abataloopa ku poliisi bawala be bajjanjabye nga bali mbuto ne bazaalisizza. Era ekibonerezo kiyinza okubaamu okusibwa n’okuwesebwa engassi’’ Nakiwala bwe yagambye.

Wadde Nakiwala teyakikonyeeko, kyokka waliwo n’okwemulugunya nti abazadde abamu abalina abaana abafuna embuto nga tebanetuuka olumu bakolagana n’abasajja ababafunyisa embuto ne babalyamu ssente ne babisirikira.

Etteeka livunaana omusajja yenna aganza omwana atanaweza myaka 18 ne bw’aba yekikirizza.

Omwana omulenzi ne bw’aba tanaweza myaka 18 naye avunaanibwa okukabawaza munne. Wadde n’omukazi akabawaza akaana akalenzi akatanaweza myaka 18 akangavvulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa