ABALWANIRIZI b’eddembe ly’abakyala baagala abakazi bonna okuli n’abafumbo batandike okusasulwa olw’emirimu gye bakola awaka ng’okulabirira abaana, okufumba emmere, okuyonja awaka, okulima, okutyaba enku n’emirala nga bagamba nti obutasasulwa kye kimu ku bibasibye mu bwavu obw’olutentezi.
Abalwanirizi b’eddembe ly’abakyala bagamba nti akakiiko ka gavumenti ak’eddembe ly’obuntu aka ‘Uganda Human Rights Commission’ kasaanidde okutandika okusomesa abantu naddala abasajja okukimanya nti abakazi okukola emirimu awaka nga tebasasulwa kityoboola eddembe lyabwe.
Bino byabadde ku Golf Course Hotel mu Kampala mu kutongoza lipooti eyavudde mu kubuuliriza ku mirimu egikolebwa awaka nga tegisasulwa mu disitulikiti okuli Kampala, Kabong e Karamoja n’e Kabale mu Kigezi.
Lipooti yatuumidwa ‘Gender roles and the Care Economy in Ugandan Households’ nga yakoledwa ebibiina okuli ekya Oxfam, UWONET n’ettendekero ly’ekikula ky’abantu erya ‘Makerere University School of women and Gender Studies.’
Omu ku bakugu mu kunoonyereza Dr. Ibrahim Kasirye eyasomye lipooti eno yagambye nti kyetaagisa abantu naddala abasajja okutandika okussa ekitiibwa mu mirimu egikolewa abakazi awaka n’okunoonya engeri gye babasasulwamu.
Yagambye nti kyetaagisa gavumenti n’abantu abalala abakwatibwako okwongera amaanyi mu kugonza emirimu abakazi gye bakola awaka okugeza; okufumba n’okulabirira abaana gireme kubakutula nnyo.
Eky’okulabirako kuliko okuyamba mu kubunyisa sigiri n’ebirala ne balemwa kumenyeko nnyo na kutyaba nku. Era yasabye ebyenjigiriza mu ggwanga byongerwemu amaanyi n’ebyobulimi abakazi basobole okwongera okufuna mu mirimu gye bakola mu kifo ky’okubeera awaka nga bakolera ebitole by’emmere.
Minisita w’abaana n’abavubuka, Nakiwala Kiyingi yagambye nti eby’obuwangwa bissa abakyala mu katu kuba abasinga balowooza nti be balina okukola emirimu gy’awaka nga ne bwe baba tebasasuddwa tebafaayo.
Yagambye nti kye kiseera abakazi batandike okulowoozebwako mu ngeri ey’enjawulo olw’emirimu gye bakola awaka olumu abasajja gye batatwala ng’ensonga.
Ssentebe w’akakiiko ka palamenti ak’ekikula ky’abantu Alex Ndezi yategeezezza nti bagenda kuleeta ekiteeso mu palamenti okulaba nti abakyala bafuna obwenkanya olw’emirimu gye bakola awaka nga tebasasulwa. Era n’asiima omulimu ogukolebwa ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abantu.