TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ennyonnyodde lwaki omubaka Zaake azzeemu okukwatibwa

Poliisi ennyonnyodde lwaki omubaka Zaake azzeemu okukwatibwa

By Stuart Yiga

Added 30th August 2018

“Omubaka ono twasooka ne tumukwata nga 13, August, 2018, kyokka olw’embeera gye yalimu, twasalawo abantu be wamu n’abasawo okubawa omwagaanya bamujjanjabe nga ffe bwe tumukuumidde wabweru w’eddwaliro e Lubaga kyokka ekyatuggye enviiri ku mutwe kwe kuwulira nti omusibe yabadde atolose,” Kayima bw’annyonnyodde.

Whatsappimage20180830at53714pm 703x422

POLIISI ezzeemu n’ekwata omubaka wa munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake n’emutwala ku mpaka yeekebejjebwe abasawo abakugu mu ddwaliro lya gavumenti Ekkulu e Mulago.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, SSP Emilian Kayima ng’ayita mu kiwandiiko ky'afumizza ku Lwokuna ategeezezza nti,  Zaake, baamukutte ng’agezaako okudduka mu ggwanga era baamusanze ku kisaawe e Ntebe ng’alinze kulinnya nnyonyi eya kampuni ya Ethiopian Airline.

Okusinziira ku bannamateeka b’omubaka Zaake, nga bakulembeddwaamu Asuman Basalirwa, bagamba nti, abasawo aboogerwako nti bagenda kumwekebejja e Mulago, abamu ku bo baaliko bwe yali yeekebejjebwa mu ddwaliro e Lubaga.

Kayima era annyonnyodde nti, engeri fayiro ye gye yawedde okukolebwako, omubaka ono bw’anaaba  akubye ku matu, ajja kutwalibwa  mu kkooti avunaanibwe emisango gy’okulya mu nsi ye olukwe.

“Omubaka ono twasooka ne tumukwata  nga 13, August, 2018, kyokka olw’embeera gye yalimu, twasalawo abantu be wamu n’abasawo okubawa omwagaanya bamujjanjabe nga ffe bwe tumukuumidde wabweru w’eddwaliro e Lubaga kyokka ekyatuggye enviiri ku mutwe kwe kuwulira nti omusibe yabadde atolose,” Kayima bw’agamba.

Kayima agamba nti newankubadde ab’olugandalwe  baabadde baagala kumutwala afune obujjanjabi obumatiza, bandisoose kufuna lukusa kuva gye bali nga Poliisi so si ku kukuta bukukusi.

........................................................................................................................

Omubaka Francis Zaake akwatiddwa abeebyokwerinda: Bamuggye mu kasenge k'abakungu

........................................................................................................................

“Twawandiikira abamujjanjaba nga tubasaba azzibwe e Mulago abakugu ba gavumenti bongere okumwekebejja kyokka ne bagaana nga bagamba nti obujjanjabi obumuweebwa bumala nga n’okumutwala e Mulago kwabadde kusiitaana kyokka ate twabasanze bamukukusa kumutwala mitalamayanja kyokka nga tannamaliriza nsonga ze,” Kayima bw'ategeezezza.

Kayima era aweze nti ku mulundu guno, eby’okwerinda bagenda ku byongeramu amaanyi wabweru w’eddwaliro e Mulago kati waakukuumibwa si kulwa ng’addamu okubatolokako nga bwe yabadde akoze amale akwatibwe ku kisaawe e Ntebe.

Ayongerako nti, Zaake  olunaafunamu akangubanguba bw’ati nga bamuddusa mu kkooti awatali kwekwasa nsonga yonna, avunaanibwe nga banne 33, okuli n’omubaka wa Kyandondo East, Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa